Sunday, February 14, 2021

Ofiisi ezigaba pamiti zikyusiddwa

OFIISI ezigaba  pamiti  mu Kampala n'emiriraano  okutandika n'omwezi ogujja zikyusiddwa okuva e Kyambogo okudda ku ofiisi z'ekitongole ky'eggaali y'omukka ekya  Uganda Railways Corporation (URC) okumpi ne Jinja Road mu masekkati ga Kampala. Kino kiddiridde gavumenti okweddizza obuvunaanyizibwa ku pamiti okuva ku kkampuni ya Face Technologies. Minisita w'ebyenguudo n'entambula, Gen. Katumba Wamala yagambye nti kkampuni ya Face Technologies yaakuwaayo obuvunaanyizibwa ku bya pamiti eri kkampuni ya Uganda Security Printing Company nga March 1, 2021.

Yagambye nti ekifo ekipya ku kitebe kya URC kyamaze okuyooyootebwa nga basigazza kutandika kukola. Wabula kino kyataddewo okutya mu b'ebidduka nga  bagamba nti wayinza okubaawo okutaataaganyizibwa mu mpeereza ya pamiti.

William Busuulwa ssentebe w'ekibiina ekigatta bannannyini mmotoka z'ebyamaguzi ekya, Uganda National Transporters Alliance (UNTA) agamba nti kkampuni empya egenda okugaba pamiti eringa eteekeddwa ku minzaani kuba  ensonga ezikwata ku pamiti zibadde zaalongooka nga n'okuzicupula kwafuuka lufumo.

Ekitebe ekikulu ekya kkampuni ya Face Technologies e Kyambogo abantu we babadde bafunira pamiti.
Ekitebe ekikulu ekya kkampuni ya Face Technologies e Kyambogo abantu we babadde bafunira pamiti.

John Mutenda eyaliko ssentebe w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'entambula ekya Transport Licensing Board (TLB) mu minisitule y'ebyenguudo n'entambula  yagambye nti Bannayuganda kye basinga okwetaaga y'empeereza ennungi. Buli lw'oyanguyiza abantu okufuna kye baagala mu budde ate mu butuufu bwakyo kitaasa ebizibu bingi ebiyinza okuddirira.

 Obuvunaanyizibwa bwa kkampuni ezigaba pamiti:

Ng'oggyeeko okugaba n'okuzza obuggya pamiti,  bavunaanyizibwa ku kugaba olukusa eri abayiga okuvuga mmotoka (Learner's permit)

Bakyusa pamiti z'amawanga amalala okuzizza mu za Uganda n'okuzza obuggya pamiti eziba zaafa.

Wabula kino bakikola oluvannyuma lw'okukakasibwa abakugu muminisitule y'ebyenguudo n'entambula.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts