Tuesday, February 23, 2021

Omubaka asekeredde abagamba nti yeddizza ebintu byazze agaba

Omubaka asekeredde abagamba nti yeddizza ebintu byazze agaba

Bya TONNY KALYANGO

OMUBAKA omukazi owa Masaka era omuwanika w'ekibiina kya DP, Mary Babirye Kabanda asekeredde abagezaako okwonoona erinnya lye nga bagamba nti yeddizza ebintu byazze agaba naddala emifaliso mu masomero n'agamba nti ategeka kugenda mu maaso n'emirimu gy'abadde akola newankubadde yawangulwa nga tayinza kujjayo ebyo bazze agabira bantu.

Yasinzidde ku kyalo Lwankoni B mu ggombolola y'e Lwankoni mu disitulikiti y'e Kyotera ku mukolo gw'okwabya olumbe lwa Joseph Ssentongo eyali bba w'omugenzi Robinah Ssentongo eyali Omubaka wa Kyotera.

Yategeezezza nti enteekateeka zonna ze yali akola mu Masaka ne ggwanga lyonna naddala mu kisaawe ky'ebyenjigiriza n'okuyambako abaana abatalina mwasirizi agenda kuzittukiza kubanga ebyo yali tabikola lw'akufuna kalulu wabula kutumbula mbeera z'abantu.

Amyuka Pulezidenti wa NUP mu Buganda era Omubaka wa Nyendo-Mukungwe divizoni mu kibuga Masaka, Mathias Mpuuga yalagidde abakulembeze b'e Kyotera abalonde okutwala omusango mu kkooti nga babanja abantu 20 abaabuzibwawo kati emyezi egigenda mu ebiri n'abasuubiza nti bagenda kubayambako ne bannamateeka ab'ekibiina kya NUP.

Kino kyaddiridde Omubaka wa Kyotera John Paul Mpalanyi Lukwago okumusaba wamu n'ekibiina kya NUP okubakwatizaako okulaba nga banunula abantu bano kubanga batuuse buli wamu naye balemereddwa okuzuula abantu baabwe.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts