Thursday, February 25, 2021

RDC agumizza ab'e Kasangati ku kibbattaka

RDC agumizza ab'e Kasangati ku kibbattaka

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka ekikyase mu bitundu ebyenjawulo gy'atwala, bw'ategeezezza nga bw'agenda okukirwanyisa okulemesa abagagga abaaliisa abanaku akakanja nga babasindiikiriza ku bibanja byabwe nga tebafunye bwenkanya olw'okukozesa ssente.

"Nze nasindikiddwa gye muli kubakolera, ofiisi nzigule ababadde beekomya ettaka ly'abanaku nga mwesiga ssente bubakeeredde. Moses Nyanzi james magala TONNY NSOONA Njagala n'abanaku bafune obwenkanya era njagala tukolere wamu kuba sazze kusosola mu ddiini, ebyobufuzi yadde eggwanga," bwe yategeezezza.

Bino yabyogedde oluvannyuma lwa Mmisa eyasomeddwa Rev Fr. Richard Seremba, mu kisomesa ky'Omutukuvu Lukka Baanabakintu e Nangabo mu Parish ya Kitagobwa, mu kulambula kwe yatandise okumanyagana n'abantu.

Mu kubuulira, Fr. Seremba yakkaatirizza obukulu bw'abazadde okukuliza abaana mu ddiini nti kino kyakuyamba eggwanga ery'omu maaso okubeera n'abakulembeze abalimu ensa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts