Tuesday, February 23, 2021

Ssaabalamuzi Owinyi Dollo agaanye okuva mu musango gwa Bobi

Ssaabalamuzi Owinyi Dollo agaanye okuva mu musango gwa Bobi

Bya ALICE NAMUTEBI. 

MUNNAMATEEKA Hassan Male Mabiriizi asitaanidde mu kkooti ey'oku ntikko ng'agezaako  okukkirizisa Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo ave mu musango gwa Bobi Wine naye n'agaana. 

Ssaabalamuzi Owinyi Dollo.

Mabiriizi ategeezezza Ssaabalamuzi Dollo nti enkolagana ye ne Museveni temusobozesa kuwulira musango gwa Bobi Wine kubanga yaliko looya wa Museveni mu kalulu ka 2006, Dr. Kiiza Besigye bwe yali amuwawaabidde nga kati abantu bamulaba ng'akolera ku biragiro bya Museveni era kyonna kyanaasala tekisobola kumatiza bantu. 

Mabiriizi agambye Dollo nti obwenkanya tebulina kwogerwa naye abantu balina okulaba nga bukolebwa kyokka okusinziira ku biriwo kati abantu bamulaba ng'akolera Museveni.  

Ayongedde okutegeeza nti enkolagana yaabwe eyongera okweyoleka kubanga oluvannyuma lw'okumuwolereza omusango mu 2006, mu 2008 Museveni yamulonda okubeera omulamuzi wa kkooti enkulu ate omwaka oguwedde namulonda okubeera Ssaabalamuzi wa Uganda ng'eri abantu balaba nkolagana nnungi eriwo wakati waabwe. 

Wabula Dollo ng'agaana okuva mu musango agambye Mabiriizi aleme kumulabisa ng'azze awoza emisango gya Museveni gyokka wabula agyeyo n'emirala nga ogwa Polof. Alex Ojok gavumenti ya Museveni gwe yali evunaana okulya mu nsi ye olukwe n'amuwolereza n'awangula ssaako enteseganya z'okumalawo olutalo lwa ssaabayeekera Joseph Kony zazze yenyigiramu okuleetawo eddembe mu mambuka ga Uganda. 

Dollo agambye nti okulondebwa kwe okubeera Ssaabalamuzi yasooka kusembebwa kakiiko ka Judicial Service Commission era ng'ekifo kyalimu tekisobola kuviirako kubeeera nakyekubira kubanga yalayira okusala emisango gyonna mu mazima n'obwenkanya. 

Agobye okusaba kwa Mabiriizi n'agamba nti ensonga kwasinzidde waakuziwa gye buddako. 

Bobi bwe yali ategeeza nga bw'agenda okugya omusango mu kkooti kyatannakola mu butongole yagamba nti enkolagana ya Ssaabalamuzi ne Museveni y'emu kwezo ezimuwalirizza kubanga tasuubira kufuna bwenkanya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts