Bya HUSSEIN BUKENYA Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright Stars - Police, Wakiso URA- Busoga, Ndejje Mbarara City - Kyetume, Mbarara OLUGERO lwa "Sser¬wajja okwota asinga nnyinimu entannama" lwolekedde okutuukira obulungi ku SC Villa singa ekubira UPDF e Bombo olwaleero (Lwamukaaga).
Oluvannyuma lwa Gavumenti okufuula Namboole enkambi y'abalwadde ba corona, Villa yabulwa ekisaawe mw'ekyaliza, aba UPDF ne bagibudamyako ku kyabwe e Bombo. Leero, omupan¬gisa (Villa) akyusirizza landiroodi we (UPDF) omudumu mu lutalo lw'obubonero obusatu mu liigi ya babinywera nti erina okugifunako obuwanguzi.
Villa ekozesa bulungi amaka gaayo, era emipiira 8 egisembyeyo gyonna egiwangudde. Wabula ne UPDF egamba nti tejja kukkirizza Villa kugirinnyirira era erina okugiwangula. Ttiimu zombi zeenkanya obubonero (15) nga UPDF eri mu kyakutaano, ate Villa kyamukaaga.
EKIKWA KYA VIPERS KU ONDUPARAKA Bukya Onduparaka eyingira liigi mu 2016, tekubwangako Vipers mu Arua. Bazannyiddeyo emirundi ena, bannyinimu ne bawangulako gumu n'amaliri (3). Vipers eneeyambisa obukugu bwa Mohammad Shaban ne Rashid Toha, abaali empagiruwagga mu Onduparaka, okweggyako ekikwa kino? Wabula Vipers tekola bulungi ku bugenyi, nga mu sizoni eno yaakawangula Busoga yokka.
URA NE BUSOGA UTD URA esuubira obutasanga buzibu kuwangula Busoga kuba tekola bulungi (Busoga). Mu mipiira 9 egyakazannyibwa terinaayo wiini. Bagikubye 4 n'amaliri 5. Wabula Sam Ssimbwa, atendeka URA, bw'omutuusa ku bugenyi abeera akulina.
Awanguliddeyo KCCA 2-1, Kitara ne MYDA 3-2, BUL 2-0, n'okulemagana ne Mbarara 1-1 ne Bright Stars 0-0. KCCA ERI LUGOGO Mike Mutebi, atendeka KCCA tebimutambulira bulungi naye bwatuuka ku ttiimu nga zino, nad¬dala ng'ali Lugogo, tatera kuyiwa bawagizi.
Kitara terina wiini bukya liigi etandika nga kiba kizibu oku¬tandikira e Lugogo. Ate Abdallah Mubiru, atendeka Police anoonya wiini ku Bright Stars ayongere okuvuganya ku kikopo.