EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe bamusabye agibatwalire babeeko bye bagyekeneenyaako, kyokka naye n'akabatema nti tasobola kukikola kuba yagibatwalira dda ne beekenenya buli kye baayagala.
Bannamateeka ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) aba Wameli and Company Advocates mu bbaluwa gye baawandiikidde Kaminsona wa URA avunaanyizibwa ku bintu ebiyingira n'okufuluma eggwanga nga February 26, 2021 baamukakasizza
nga bwe baafunye ebbaluwa gye yawandiikidde Kyagulanyi nga bamusaba okuzzaayo emmotoka bagyekebejje.
Kyokka baagambye nti eky'okuzzaayo emmotoka tebajja kukikola, kuba emmotoka baasooka kugibatwalira ne beekebejja buli kye baagala oluvannyuma n'ebaddira nga bakakasizza nti beekebezze buli kye baagala.
Baategeezezza nti kituufu mu tteeka lya EAC Customs Management Act mu nnyingo ya 236 (d) ewa Kamisona obuyinza okukebera ebintu byonna, kyokka etteeka terimuwa nkizo kuddamu kukebera bintu ebibeera bimaze okutwalibwayo ne bikeberebwa ne
bimala okujjibwako omusolo era ne biweebwa bannannyini byo.
Mu mbeera eno, tebalina ngeri gye bayinza kuzzaayo mmotoka ya Kyagulanyi ey'ekika kya Toyota Land Cruiser V8 REG.NO. UBJ 667F.
Eky'okuzzaayo emmotoka baakiyise kumalako Kyagulanyi ddembe ly'okubeera n'emmotoka gye yafuna mu mateeka n'okumumalako eddembe lye.
Ebbaluwa Kamisona gye yabadde awandiikidde Kyagulanyi nga February 24, 2016 baamusabye agisazeemu kuba bye yabadde asaba bikontana n'amateeka.
Ensonda zaategeezezza nti abakungu mu URA bali mu kusattira olw'akazito akabateereddwako abakulu nga baagala okumanya engeri emmotoka eno gye yayingiramu mu ggwanga.
Eky'okuwandiikira Kyagulanyi asooke agizzeeyo mu URA kyagendereddwaamu okuddamu okwekebejja babalirire oba nga yasasula emisolo emituufu gye yalina okusasula. Bwe kizuulwa nti mw'alimu ebitaatambula bulungi, nnyiniyo abeera alina okuggulwako omusango gw'obutasasula misolo.
Ian Rumanyika omwogezi wa URA yategeezezza nga bwe bali mu kunoonyereza ku mmotoka ya Kyagulanyi etayitamu masasi.
Kyokka teyalambuludde bye banoonyereza byennyini n'asuubiza okufulumya lipooti oluvannyuma ng'okunoonyereza kuwedde.
Kyokka yawakanyizza ebyogerwa nti waliwo omukozi w'ekitongole akolera ku boda eyagobeddwa olw'okukkiriza emmotoka eno okuyingira mu ggwanga.
Wiiki ewedde, Kyagulanyi yategeeza abawagizi be nga bwe waliwo abantu ababeera ebweru w'eggwanga abeekozeemu omulimu ne bamugulira emmotoka eno
etayitamu masasi. Ebalirirwamu ssente ezisukka akawumbi akalamba okugigula.
Ensonda mu URA ziraga nti emmotoka eno yayingizibwa munnansi wa Kenya, Fauz Khalid nga November 2, 2020.
Yayita ku nsalo ya Uganda ne Kenya era yajjira ku ttaka ng'eriko nnamba za Kenya, KCY 550X era nnamba ya "Logbook" y'emmotoka ng'eri K3323207K era Fauz yasooka kusasula omusolo gw'okugivugira ku nguudo za Uganda. Yasasula omusolo gwa 88,612,027/-.
Kigambibwa nti aba URA beebuuza ku ba Interpol era nga January 6, 2021 ne baweereza ebbaluwa eraga nti emmotoka terina buzibu era URA n'ekolera ku bbaluwa eno okukkiriza empapula ezaaweebwayo Fauz.
Empapula zaakolwako nga January 8, 2021 era ne ziyisibwa nga January 12, 2021.
Amangu ddala nga Fauz amaze okufuna empapula ezirambika obwannannyini bw'emmotoka eno era ng'afunye n'ennamba yaayo, yateekayo empapula endala ezikyusa obwannannyini, ng'emmotoka eva mu mannya ga Fauz Khalid ng'edda mu mannya ga Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Okusaba kuno nakwo kwakkirizibwa nga February 18, 2021 era emmotoka n'etwalibwa ewa Kyagulanyi e Magere ku lw'e Gayaaza era n'assaako obubaka obuyozaayoza abantu ku Ssande nga February 21, 2021 okutuukiriza ekirowoozo ekyajja ng'ekirooto
okumugulira emmotoka etayitamu masasi.
Monday, March 1, 2021
Aba URA beezinze ku mmotoka ya Kyagulanyi empya
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...