Thursday, March 18, 2021

Abakulembeze b'e Kayunga balaze bwe banaakuza Disitulikiti

Abakulembeze b'e Kayunga balaze bwe banaakuza Disitulikiti

ABABAKA ba Palamenti abapya e Kayunga ne ssentebe wa disitulikiti balaze entegeka ze baleese okukulaakulanya disitulikiti etubidde mu bizibu eby'enjawulo.  

Abantu b'e Kayunga bamanyiddwa ng'abalimi b'ennanansi, kyokka abazibagulako babadondola  kuba ennanansi omunaana bazibagulako 10,000/-. 

Waliwo eggombolola ezimu nga Kangulumira gye batalina ssomero lya siniya lya Gavumenti. Konsitityuwensi y'e Bbaale yonna mu 2019 yalimu omuyizi wa P.7 omu eyayitira mu ddaala erisooka. 

Obwavu bungi e Kayunga era kyeyolekera ne ku muwendo gw'amayumba amangi ag'essubi g'osanga mu bitundu nga  Galiraaya n'awalala. 

Ekizibu ky'okusengulwa ku ttaka kye kimu ku binyiga ennyo abatuuze era bangi bali mu kutya olw'okutiisibwatiisibwa kwe bafuna. Ettaka ly'ebibira nga Kiwuula, Kirasa ne Kisaalizi lyonna lyatwalibwa abanene abeeyambisa ebitongole byokwerinda. 

Ababeera ku luguudo lw'e Kayunga-Bbaale-Galiraya tebamanyi lwe baliwona nfuufu, kuba kitutte emyaka 10 bukya lupimibwa kukolebwa. Essuubi eririwo liro mu manifesito ya Pulezidenti Museveni eya  2021-26 mwe  yasuubiri za okulukola  mu mwaka gwa 2023. 

Abasuubuzi Nga Bali Mu Katale K'ebyennyanja.

Mu kulonda okwakaggwa Kayunga yafunye ababaka abapya okuli; Charles Tebandeke owe Bbaale (NUP), Muhammad Ffeffekka Sserubogo (NUP) ssentebe wa disitulikiti  ne Patrick Nsanja Kayongo atalina kibiina owa Ntenjeru South.  

FFEFFEKKA SSERUBOGO

Ayagala kuteekawo obumu mu bakulembeze bonna abalonde n'abakozi ba Gavumenti kuba akizudde ng'entalo ezitakoma kye kimu ku kigaanye disitulikiti okugenda mu maaso. 

Wadde nga ye wa ludda oluvuganya Gavumenti, kyokka ajja kweyambisa pulojekiti za Gavumenti zonna eziruubirira okukulaakulanya abantu nga Emyooga. Obufuzi bwe si bwakubeeramu kusosola mu bantu mu ndowooza z'ebyobufuzi, amaddiini wadde amawanga. 

Ebyobulamu ayagala kulaba ng'amalwaliro gabeeramu eddagala n'amasomero  nga galimu ebikozesebwa. Abazadde balina okulaba nga baddamu okufaayo ku masomero gaabwe n'abalambuzi bakole ogwabwe. 

Ekizibu ky'okulwanyisa okusengula abantu ku ttaka waakukirwanyisa ng'atandikira ku kumanya obwannannyini bw'ettaka we buyimiridde mu disitulikiti yonna. Ayagala kulaba ng'owekibanja tagobaganyizibwa ate nga ne nannyini ttaka tatwalibwako ttaka lye. 

Ssente  ezaateekebwawo Gavumenti okuyamba ab'ebibanja okwegula ayagala okulaba ng'abe Kayunga nabo zibayamba kuba bangi bagobaganyiziddwa olw'ensonga eno. 

TEBANDEKE

Ayagala kulwanirira bya nvuba kuba abantu bangi abali mu gw'okuvuba engeri gye basalagana n'omugga Kiyira. Obuvubi ayagala buddukanyizibwe ababulinamu obumanyi. 

Obuvubi ayagala kulaba nga bubeera n'amateeka agatuukana n'embeera y'abavubi kuba etteeka liragira okukozesa eryato lya ffuuti 28 eritasobola kutambulira mu mazzi amatono agakozesebwa abavubi mu ggwanga.

Bamusigansimbi ayagala bateekebweko amateeka agabakugira okuteekawo ebbeeyi y'ebyamaguzi nga bwe baagala. Ebbeeyi erina okuba ng'etambulira ku katale ka doola nga bwe kakyukakyuka.

Tebandeke yasuubizza okukiikirira abantu okwa namaddala, okwamazima, okulimu obwenkanya n'obwerufu ng'ayasanguza ebikolobero by'e Bbaale byonna n'ababikola mu lukiiko lw'eggwanga.

Ebikajjo yagambye nti abantu baagulaba ng'omukisa mu kusooka kyokka bifundikidde bifuuse ekizibu. Ekisooka bitwala ekifo kinene okubirima abantu ne babulwa ne we balimira emmere. Abantu bapakasa mu masamba okumala olunaku lulamba ne basasulwa 2000.

Bwanaatuuka mu Palamenti ajja kufaayo okulaba nga bamusigansimbi bassaawo amakolero ga sukaali mu kitundu kiyambeko abantu okufuna emirimu. 

Ebikolwa ebinyigiriza abantu ng'okubba ettaka, obutamanya n'ebbula ly'emirimu ajja kubissa ku mwanjo. Kwajja okugatta okutumbula ebyenjigiriza ng'agaba baasale, okutumbula eby'emizannyo n'okusakira amasomero agali mu mbeera embi. 

PATRICK NSANJA KAYONGO

Yasuubiza okubeera mu bantu kuba kye kijja okumuyamba okumanya ebibanyiga n'okumanya ebirina okutandikirwako. Enkola y'okwesuula b'okulembera agamba kye kimu ku bivaako obutaweereza bulungi. 

Enkola ya Munnomukabi ng'aduukirira abalina obuzibu ng'ayita mu kugula weema, obutebe, amasowaani nabyo agenda kubisoosowaza nnyo. 

Nsanja yagambye nti Kayunga y'e disitulikiti esinga okulima ennaanansi mu Uganda, kyokka tebalina katale. Mu kisanja kino ajja kulwana okulaba nga bafuna ekyuma ekikamula omubisi kyongere okuwa abalimi akatale. 

 

 

 

 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts