ABAKUNGU mu byenkulakulana ku lukalu lwa Africa balaze omugaso gw'okukuuma obutonde bwensi mu kaweefube w'okuddabulula ebyenfuna bya Africa ebikoseddwa Senyigga omukambwe(COVID19).
Bano mu lukung'aana olubadde ku mutimbagano mu kibuga Brazavillee eky'eggwanga lya Congo bategeezezza nti ssenyigga omukambwe akosezza enkulakulana ku lukalu lwa Africa kyokka nga n'embeera y'obudde etabanguse evuddeko obutyabaga bungi obukoseza enkulakulana.
Bw'abadde aggulawo olukung'aana luno omuwandiisi w'olukiiko lw'amawanga amagatte era nga yemuwandiisi wakakiiko akavunanyizibwa ku byenfuna bya Africa Vera Songwe agambye nti ebyenfuna bya Africa bikosebwa obutyabaga obuva kumbeera y'obudde ebitundu 5-9% buli mwaka.
Abakugu bagamba nti okukuuma obutonde bwensi mu Africa kyakuyamba nyo okutonderawo abavubuka n'abakyala emilimu naddala nga batandikawo obukolero obutonotono amawanga g'olukalu lwa Africa okusobola okweyimirizawo.
Songwe ategeezeza nti singa buli muntu atuukiriza oluwalo lwe mu kukuuma obutonde bwensi Africa yakutinta omwaka 2030 wegunatukira.Mulukung'aana luno era bakubaganyiza n'ebirowoozo ku ngeri emikuti gya yintaneti gye giyiza okukozesebwa okuyimirizaawo olukalu lw'omudugavu n'okusalira amagezi ebisomoza amawanga agenjawulo mu Africa