Monday, March 1, 2021

Abasuubula Hibiscus bayingiza ekiwera

Abasuubula Hibiscus bayingiza ekiwera

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye mu byempuliziganya nti abantu bafuna amawulire mangi ku biki bye bateekeddwa okukola n'okulya okusobola okubeera n'obulamu obweyagaza.

Mu kino abantu bafunyeemu emirimu mingi kyokka era n'ababadde babonyaabonyezebwa endwadde nabo ne bafuna omukisa gw'okufuna eddagala eriweweeza ate oboolyawo n'eriwonyeza ddala.

Ekimu ku birime ekikozesebwa ennyo ennaku zino kye kya HIBISCUS, era nga kigambibwa nti kyakazuulibwa mu Uganda okuba eky'omugaso ennyo mu by'obulamu.
Hibiscus akungulibwako bimuli ebibeera mu langi ya kakobe oluvannyuma ne bikazibwa.
Abamulima atera okumala ebbanga lya wakati wa myaka ebiri n'esatu okutuuka okukungulwako ebimuli.

Abamu babitunda nga bwe biri nga bimaze okukala ate abalala babyongerako omutindo ne batunda nga bikamuddwaamu omubisi oluvannyuma lw'okutabikamu amazzi n'ebirungo ebirala.

Hibiscus asinga kulimibwa mu mambuka g'eggwanga mu Lira, Soroti, Mbale n'awala.
Ebimuli bya Hibiscus nga bituuse mu Kampala buli kkiro esuubuzibwa wakati wa 7,500/- ne 8,500/-.

Ku midaala buli kkiro eri wakati wa 12,000/- ne 13,000/- wabula ng'abo abamupimira mu buveera obw'ettu ku 1,000/- bafunamu ekisingawo.

Binnyonnyoddwa Juliet Nabwire nga musuubuzi wa Hibiscus ku katale ka St Balikuddembe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts