Bya MADINAH NALWANGA
ABATUUZE b'e Seeta Nazigo mu ggombolola y'e Nakisunga mu disitulikiti y'e Mukono balumirizza ssentebe w'omuluka gw'e Seeta Nazigo, Edward Kayemba Kikonyogo okulya enguzi mu musango gwa Paul Mukyesi eyattibwa abatuuze oluvannyuma lw'ebigambibwa nti baamukwata lubona ng'amenye essomero okubba, ne bamutta ku ssomero lya Waltham College e Kirwanyi.
Georfrey Asiimwe omu ku be yalyako ssente ategeezezza nti Kayemba yamukubira essimu n'amugamba amusisinkane ng'agamba nti erinnya lye lyafulumidde ku lukalala lw'abantu abatta.
Oluvannyuma yabagamba nti poliisi erina obujulizi obubaluma era okubataasa balina okufuuka abajulizi ku nsonga eyo n'amuwa n'amannya g'abantu baalina okulumiriza okuli: Charles Ssenfuma ne Hannington Kibenge ssentebe w'e Kirwanyi.
Asiimwe agamba nti baamunona kiro ku kabangali ya poliisi ne bamutwala ne bamulagira okuteeka omukono ku kiwandiiko kye yali tamanyiiko mutwe na magulu.
Ku Asiimwe baagattako abalala babiri okuli: Brian Yiga ne Paul Bamuwayira. Kuno Kayemba yagattako okubasaba akakadde ka ssente ez'omuserikale okubaggyako omusango ng'era zino ze zaamuleetedde akabasa ne bamukwata.
Baamugguddeko omusango gw'okulya enguzi ku fayiro nnamba SD REF: 91/15/03/2021 ku poliisi e Mukono.
Bamuwayire agamba nti bwe baali batta omuntu yali yeebase ate ng'asula ku kyalo kirala ate Yiga agamba nti yatuukawo nga ne poliisi yazze dda. Simon Kasiga omu ku beng'anda agambye nti si mumativu ku nfa ya muganda we. Asabye be kikwatako okukola ku nsonga zaabwe n'obwegendereza.
Luke Owoyesigire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, ategeezezza nti kituufu Kayemba baamukwata n'enguzi ya mitwalo 40 era fayiro okuli ey'obutemu n'eyokulya enguzi baazitutte ewa ssaabawaabi wa Gavumenti ezeekenneenye.