EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, si kyakusazaamu lunaku lwa Mmande enkya olw'abakyala mu nsi yonna okuwummula, abayizi ba siniya eyookuna baakukola ebibuuzo byabwe eby'akamalirizo nga bwe byategekebwa ku ‘Time Table'.
Ssaabawandiisi w'ekitongole ky'ebigezo, Daniel Nokrach Odong yagambye nti, enkya ku Mmande wadde lunaku lwa kuwummula, ebibuuzo birina okugenda mu maaso, era essomo lya Chemistry Practical (Paper four) ne IPS Art; Studio Technology (Paper six) birina okukolebwa.
Alabudde abayizi n'abakulu b'amasomero, na bonna beekikwatako mu kutegeka ebigezo okufuba okulaba ng'ebigezo babikola.