Bya VIVIEN NAKITENDE
ABATUUZE b'e Mutundwe mu zooni ya Kabaawo, bavudde mu mbeera ne batabukira Abayindi ba nnannyini kkampuni ya PRAYOSHA ekola endabirwamu, olw'okuziba ekkubo lye bakozesa, ssaako okuziba emyala egiri mu kitundu.
Abatuuze bagamba nti, bino byonna Abayindi babikola, nga bagezaako okubanyigiriza beetamwe bakkirize okubagula obusente obutono ku ttaka lyabwe ekintu kye bagamba nti tekigenda kusoboka.
Bagamba nti, abayindi bano bazze bagula ekyalo, kyokka nga bateekawo embeera enyigiriza n'okutiisatiisa ababa basigaddewo, olwo nabo bapondooke babagule ku busente obutono nga n'abamu baagala kubagula bukadde busatu, ekintu kye bagamba nti, kya bujoozi nnyo.
Deogratious Owayezu, omu ku banyigirizibwa ku ttaka lino agambye nti, ennaku bbiri emabega omuyindi yabadde ayagala okuziba ekkubo, ne beekubira enduulu ku poliisi ne babatuuza ne bakkaanya obutakwata ku kkubo, kyokka beewuunya Abayindi ate okuliziba. Bwe bagezaako okulaga obutali bumativu ate Poliisi edda ku ludda lw'Abayindi ekintu ekibamazeemu amaanyi.
Ate ye Ssentebe w'ekyalo, Richard Ssendikaddiwa abatuuze bamulumiriza obutabayamba ne bakimuteekako nti yandiba nga yeekoobaana n'Abayindi okubatulugunya nga baziba amakubo n'emyala.
Kyokka ono agamba nti wabaddewo enkaayana nga waliwo omutuuze omu ng'ettaka lye baaliyingiddemu, era tutuuseewo ne poliisi ne tuyimiriza Abayindi okubaako ekirala kye bakola okutuusa ku Lwokubiri bamale okuleeta abapunta baddemu okupima ettaka lino okulaba ekituufu.