OMUWABUZI wa Pulezidenti ku byekijaasi, Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso alabudde nti ebitongole by'okwerinda bijja kugenda mu maaso okukwata bonna abateeberezebwa okwenyigira mu buzzi bw'emisango bavunaanibwe.
Agamba nti newankubadde minisita w'ensonga zomunda, Gen. Jeje Odongo gye buvuddeko yasomedde palamenti olukalala lw'abantu abaakwatibwa mu byekuusa ku kwekalakaasa okwaliwo mu November omwaka oguwedde, kino tekijja kulobera bakuumaddembe okwongera okuyigga abamenyi b'amateeka abatannakwatibwa.
Yakubirizza abantu naddala abavubuka okwongera okwegendereza kuba kkamera ezaateekebwa ku makubo ziraba ebiri ewala era poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe bikyagenda mu maaso n'okwekenneenya, buli eyalabikira mu kkamera zino akwatibwe.
"Waliwo abamu abadduka ne beekweka naye era bwe banaakomawo tujja kubakwata. Abalala twali tetunnabeetegereza naye bwe tunaagezza ebifaananyi ne tubategeera nabo nga tubakwata," Nalweyiso bwe yagambye n'aggumiza ku ky'ebitongole ebikuumaddembe okugenda mu maaso n'okukola ebikwekweto.
Yabadde annyonnyola abaamawulire mu ofi isi ye mu maka gw'obwapulezidenti e Nakasero. Ku ky'okweyambisa mmotoka za Noah ne Ipsum olw'abantu okwekengera ttakisi ezaakazibwako erya ‘Drone' okuyigga be bateebereza mu kuzza emisango, Nalweyiso yagambye nti abaserikale balina ebbeetu okweyambisa mmotoka yonna kuba eza poliisi ezikuba obugombe abamenyi b'amateeka bazeekengera mangu ne badduka.
Yannyonnyodde nti gye buvuddeko abantu baali beemulugunya ku bumenyi bw'amateeka obwali bweyongedde gavumenti kwe kugula kkamera eziyambye okubulwanyisa.
Nalweyiso yasabye Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga okuvaayo aluηηamye abavubuka ku bigambo bya kkooti y'abantu nga bwe yakola n'ayogera ku by'okunoga emmwaanyi emmyuufu oba eza kyenvu.
Nalweyiso yanenyezza n'abakulembeze ba Klezia olw'okusirika nga bannaddiini
beeyambisa obutuuti okuvumirira NRM n'okulagira abagoberezi obutalonda bawagizi ba kibiina kya NRM.
Yanenyezza minisita w'ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi olw'okugenda mu Klezia e Lubaga ne yeetonda ku lwa gavumenti olwa kye yayita ebigambo ebitaali birungi ebyava mu bamu ku bakulembeze mu gavumenti.
Yagambye nti kino kyali tekyetaagisa kuba ne Minisita alina okutangaaza ku bigambo ebyanyiiza Klezia n'eyamutuma yeetonde.
Monday, March 15, 2021
Abeenyigira mu buzzi bw'emisango tukyabakwata - Nalweyiso
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...