Wednesday, March 31, 2021

Akalippagano k'emmeeri kawezezza mayiro 100

Akalippagano k'emmeeri kawezezza mayiro 100

EBY'EMMEERI bikyalanda bw'evudde mu kkubo n'edda ku bbali okugyekebejja embeera gy'erimu oba esobola okutambula ennaku 16 z'esigazza, wakati mu kalippagano ke yaleese ku mmeeri endala akasusse mayiro 100.

Emmeeri eyitibwa Ever Given eya kkampuni ya Evergreen ey'e Taiwan, yava Taiwan ng'ekubyeko konteyina z'ebyamaguzi 20,000 nga buli emu ya ffuuti 40.

E Taiwan gye yasimbula, okutuuka ku mwalo gwa Rotterdam mu Budaaki gy'eraga, ziri mayiro 5,916 ng'emala ennaku 47 mu kkubo. Okukwama, emmeeri eno ezitowa ttani 200,000, yali yaakatambulira ennaku 31.

Obwaguuga bw'emmeeri eno bwazziddwa ku bbali okwekebejjebwa okuzuula ekyagireetera okuwagamira mu lwannanda lwa Suez Canal ekitabudde ensi, amafuta ne
galinnya n'okufiiriza abasuubuzi obukadde 400 eza ddoola (mu za Uganda 1,464,290,400,000/-) buli lunaku olw'emmeeri ezitakyasobola kuyitawo.

Okunoonyereza kwalaze nti kibuyaga ye yagiwugula wabula abagoba baayo, 25 ab'eggwanga lya Buyindi tebaalina buzibu. Bamakanika okuva mu Amerika, China, Buyindi, Taiwan ne Japan abaagikola baatuuse okugikebera obutaddamu kuleeta buzibu mu lwannanda oluliko mayiro 120 okuva mu liyanja Red Sea gye lutandikira
okutuuka ku liyanja Mediterranean Sea.

Ne bamakanika ba kkampuni ya Bernhard Schulte Ship management abaagikola nabo baatuuse mu kifo ekiyitibwa Great Bitter Lake ku liyanja Mediterranean sea w'egenda okukuba enkambi okuginoonyerezaako mu bujjuvu, eryoke eyolekere olugendo olulala okutuuka mu Bulaaya.

Ku lwannanda, egenda eyimirira nga bwe bagyekebejja era wadde kitwala essaawa wakati wa 10 ne 12 okulumalako, yaweereddwa akadde obutapakuka si kulwa
ng'ereeta obuzibu obulala.

AKALIPPAGANO KAKUBISIZZAAMU

Obuzibu obuli ku Suez Canal essaawa eno, bwe bwaguuga bw'emmeeri endala ezisoba mu 400 eziseeyeeya empola nga nazo zeegendereza obutakola nsobi ya Ever Given. Wadde zitambula kasoobo, waliwo ezaatuuse, ekyaleese amafuta okukka ebbeeyi.

Kyokka aba kkampuni ya Maersk ,ey'e Den Mark etambuza ebyamaguzi ku gayanja nga bw'olaba eya Evergreen, erabudde abasuubuzi b'etambuliza ebyabwe nti baakulwawo okubibatuusaako olw'akalippagano akaakutte emmeeri ezidda erudda n'erudda
obuwanvu bwa mayiro nga 100.

OLWANNANDA LULIKO MAYIRO 120

Aboobuyinza mu kibuga Cairo e Misiri abaddukanya olwannanda luno bagamba nti embeera y'obudde eya kibuyaga, y'emu ku yavuddeko amazzi okwekasuka nga bwe gakola amayengo agaawugudde Ever Given n'ekwama era embeera y'emu ye yavuddeko kibuyaga eyakubye emmeeri eno eyabadde eyambibwako obwaguuga bw'amaato agagisika okusitula amazzi n'ewewuka okutuusa lwe yavudde
we yabadde ewagamidde.

Kino kitegeeza nti emmeeri zonna zirina kuseeyeeya mpola okwewala obuzibu era akalippagano kasobola okumala wiiki endala nnamba nga kakutte.

EBISOLO N'EBINYONYI BIFIIRIDDEMU

Ezimu ku mmeeri zitwala ndiga n'ente ebyatandise okufa olw'emmere n'eddagala okubiggwaako. Kino kyavudde ku budde bwe byabadde birina okumala ku mmeeri okusukkamu wabula Misiri yakkirizza obwato obutonotono okuyitaayita mu mmeeri zino nga batwalira abalina obwetaavu bw'emmere, eddagala ne kalonda omulala gwe beetaaga.

Ekitongole kya Marine Traffic, ekikola ku kulondoola ebyentambula z'emmeeri mu nsi yonna, kyategeezezza nti kuliko emmeeri ezitisse omugatte gw'endiga 200,000 n'ente 1,613 eziva e Romania ne Spain mu Bulaaya, endala mu South Amerika eziri mu bulabe olw'embeera gye zirimu eva ku kalippagano.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts