OMUVUBUKA abbye abaana n'abakozesa ng'akatego n'abbirako essimu mu saluuni ku Kaleerwe. Abaana kuliko eyagambye nti ye Hussein Matovu ne James. Bano baategeezezza nti omusajja yabasanze bagenda ku luzzi n'abagamba nti abatwala kubagulira byakulya n'abassa ku bodaboda.
Patricia Nassuna owa saluuni yategeezezza nti omuvubuka yagenze ku saluuni n'abaana nti ayagala kubasala nviiri kyokka asala enviiri teyabaddewo n'alagira bagira babasala enjala. Oluvannyuma yasabye omu ku bakozi essimu abeeko gw'akubira, bwe baagimuwadde yeefudde akuba n'afuluma wabweru n'abulawo.
Baamukubidde n'abagamba akomawo oluvannyuma essimu yagiggyeeko era baalabye obudde bugenderera abaana ne babatwala ku poliisi y'oku Kaleerwe ne baggulawo omusango ku fayiro nnamba