Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti poliisi ng'eri wamu n'ekitongole ky'amagye ekikessi ki Chieftaincy of Military Intelligence ( CMI) kiriko omusajja gwe baakutte n'ebbomu ku kyalo Bulyanteete e Buikwe nga yabadde agikwese mu nnyumba ye.
Daniel Kaliisa ye yakwatiddwa ng'ono bbomu gye yakwatiddwa nayo yabadde amaze okugiyunga ku ssimu y'ekika kya Itel nga bwevuga ebwatukirawo n'ekola obulabe.
Yagambye nti Kaliisa yasangiddwa n'obutabo obusomesa ku ntalo essimu ekika kya Sumsung, densite 2 nga yatwaliddwa ayongere okunoonyerezebwako n'abantu bakolagana nabo.