Bya Benjamin Ssebaggala
GAVUMENTI ya Amerika yeeyamye okugenda mu maaso ng'ekwatirako eya Uganda okulwanyisa endwadde y'akafuba n'ebigenge okuzimalirawo ddala. Obweyamo babukoledde ku mikolo gy'okukuza olunaku lw'endwadde yakafuba n'ebigenge mu Uganda n'ensi yonna nga mu Uganda emikolo gibadde Karamoja mu disitulikiti y'e Moroto.
Richard Nelson akulira ekitongole kya USAID mu Uganda asinzidde eno n'ategeeza nti Amerika nneetegefu okukwasizaako Uganda okuzimba ebyobulamu eby'eyagaza eri buli Munnayuganda okuva ku baana, abakyala n'abaami buli omu afune empeereza z'ateekeddwa okufuna.
Omwaka gwa 2018, Amerika yatongoza enteekateeka ya "Global Accelerator to End TB" ng'erimu okukebera abalina akafuba obukadde 40 babawe obujjanjabi n'abantu abalala obukadde 30 babateeke ku ddagala eriziyiza akafuba omwaka 2022 we gunaatuukira.
Okuyita mu kitongole kya USAID, bagende bateeka abakugu ku misisitule z'ebyobulamu mu mawanga ag'enjawulo okutuukiriza entegeka ya ‘National TB programs' okuyita mu bibiina 35 mu mawanga ge bakolagana nago nga ne Uganda kweri.
Mu Uganda kino basobodde okukituukiriza nga bayita mu kitongole ekirwanyisa endwadde ezisiigibwa ekya ‘Infectious Diseases Institute' era kyekiri mu kutuukiriza entegeka y'okulwanyisa akafuba mu bitundu by'e Karamoja.
Okusinziira ku kitongole kya USAID, obulwadde bw'akafuba bwabulabe okwetooloola ensi yonna nga buli mwaka bukwata abantu obukadde 10 ne buttako 1,500,000.
Wabula obulwadde bw'akafuba busobola okujjanjabwa ne buwona era mu myaka 20 egiyise basobodde okujjanjaba abantu obukadde 63 ne bawona. Enteekateeka y'okulwanyisa akafuba mu bitundu by'e Karamoja, USAID egitaddemu ssente 27,524,947,500/ okugitambuza emyaka etaano (2020-2025).
Nelson ayozaayozezza abantu mu kitundu kya Karamoja abeewaddeyo okujjanjabibwa akafuba kubanga abantu 80 ku buli 100 be bajjanjabye bakkirizza okukozesa eddagala mu butuufu ne bawona.