Sunday, March 14, 2021

▶️ Babakutte lwa kweyita bakozi ba State House

▶️   Babakutte lwa  kweyita bakozi ba State House

AKAKIIKO ka State House Anti- Corruption Unit nga kakolera wamu ne poliisi bakutte abasajja babiri ababadde beeyita abakozi mu State House ne babba abantu.

Abaakwatiddwa kuliko; Lawrence Begumisa ne Ronald Rwabahangi ng'okukwatibwa kyaddiridde okusaba omukazi ssente nga bamusuubizza okumufunira sikaala mu maka g'obwapulezidenti n'okubatwala okulaba pulezidenti.

Baakwatiddwa ku Lwokuna akawungeezi nga basabye omukazi ono (amannya gasirikiddwa) obukadde busatu basobole okumufunira sikaala omwana we
asobole okusoma. Omukazi kigambibwa nti oluvannyuma yabeekengedde n'atemya ku beebyokwerinda abaabakutte.



Wiiki ewedde akulira akakiiko ka State House Anti Unit, Lt. Col. Edith Nakalema yalabula abantu abeefuula abakozi ba State House n'ategeeza nga bwe batagenda kuttira muntu yenna ku liiso.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Oweyesigyire yagambye nti abaakwatiddwa essaawa yonna baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe
okwefuula kye batali.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts