
Munnamateeka Nicholas Opio alwanirira eddembe ly'obuntu azzeemu okusimbibwa mu maaso g'omulamuzi Moses Nabende owa kkooti ewozesa abalyake ku misango gy'okukukusa ssente wabula takkiriziddwa kusaba kweyimirirwa.

Opio olumusomedde omusango gw'okukukusa ssente ddoola 340,000 ng'asinzira mu kkomera e Kitalya omulamuzi Nabende n'amutegeeza ng'omusango gwe bwe gulina okuwulirwa mu kkooti enkulu.
Omuwaabi wa gavumenti Stephen Ariong asabye kkooti eyongereyo okusoma omusango guno basobole okumaliriza okunoonyereza kwe baliko.

Looya wa Opio, David Mpanga akiwakanyizza n'agamba nti kino kubeera kutyoboola kkooti n'asaba Omulamuzi awalirize oludda oluwaabi okubabuulira lwe banaamaliriza okunoonyereza kwabwe .
Omulamuzi Nabende azzeemu okumusindika ku limanda okutuusa nga January 11, 2021 oludda oluwaabi bwe lunaamaliriza okunoonyereza kubanga lwe basoose okumusomera omusango guno.
Balooya ba Opio baddukidde mu kkooti enkulu okumununula.