Ekibiina ky'obwannakyewa ekiri ku mutendera gw'ensi yonna ekya Heavenly Culture, World Peace, Restoration of Light (HWPL) abalina ofiisi mu Uganda kisabye wabeerewo okwogerezeganya okuva ku njuyi zonna obulamu bw'abantu buleme okutokomoka.
Omulwanirizi w'eddembe Man Hee Lee era akulira HWPL, akunga abalwanirizi b'eddembe okuva mu nsi yonna okuvaayo boogeze eddoboozi limu mu nteekateeak z'okulaga obuwagizi bw'okukomya obusambattuko nga bayita mu kuteesa wakati w'amagye agaawamba obuyinza n'Abantu babulijjo.
Agamba nti tewali biruubirirwa bya muntu by'alina kutuukiriza ng'atyoboola eddembe ly'abalala era tebasaanye kwekwasa nsonga ntono nga balowooza nti ziyinza okusinga obulamu bw'abantu.
Abantu bikumi na bikumi bafudde n'abalala ne bauuse n'ebisago ebyamaanyi mu nnaku eziyise ng'amagye gagezaako okugumbulula okwekalakaasa abantu abeenyigira mu okw'emirembe.
"Abafudde basukka mu 200 n'abalala abasukka mu 2,000 amagye gabakutte ne babaggalira . ffe nga Bannansi ba Myanmar, tukkaanya ne Bannansi ba Korea wamu ne HWPL okuzzaa emirembe mu nsi yaffe" Kasauh Mon akulira ekitongole ky'amawulire ekya Mon News Agency e Myanmar.
Ekiseera kino tusaba ensi yonna okuteeka akazito ku gavumenti ya bannamagye ekomye okutulugunya abantu abali mu kwekalakaasa okw'emiembe.
Emyaka etaano egiyise, ekibiina kya HWPL kizze kikwatagana n'abalwanirizi b'eddembe ne kikung'aanya ebbaluwa 730,000 bannansi mu mawanga 176 nga basaba okuzimba enteekateeka z'emirembe enzigumivu mu mawanga gabwe.