Tuesday, March 30, 2021

Batongozza okufunira paasipooti ku yintaneeti e Mbarara

Batongozza okufunira paasipooti ku yintaneeti e Mbarara

Bya Fatumah Nagudi

Minisitule evunaanyizibwa ku kuyingira n'okufuluma kw'abantu mu ggwanga (Ministry of internal affairs citizenship and immigration control) etongozza enkola y'okufunira passport ku mukutu gwa yintaneti mu Mbarara.

Okutongoza kuno kwakoleddwa ku ofiisi eyagguddwaawo mu kibuga  Mbarara era kwetabiddwako abakulembeze ab'enjawulo omuli n'abebyokwerinda okuva mu kitundu kya Rwizi. Kitegeeza abantu bagenda kuba tebeetaaga kwewuuba okufuna passport byonna bagenda kubikolera ku mukutu gwa yintaneti. Disitulikiti y'e Mbarara y'esoose okufuna enkola eno ng'oggyeeko Kampala, era yaakutwala disitulikiti 22.

Maj. Gen. Apollo Kasita-Gowa dayirekita Citzenship & Immigration Control ng'akwasa omu ku baaganyuddwa mu nkola eno eya E-passport e Mbarara.
Maj. Gen. Apollo Kasita-Gowa dayirekita Citzenship & Immigration Control ng'akwasa omu ku baaganyuddwa mu nkola eno eya E-passport e Mbarara.

Mu kutongoza enkola eno, Maj. Gen. Apollo Kasita - Gowa Director Citizenship & Passport Control yagambye nti mu mwezi gumu bagenda kuba baggulawo ofiisi mu bitundu ebirala nga Mbale ne Gulu.

Brig. Johnson Namanya akola nga commissioner citizenship & passport control yagambye nti kino kigendereddwa okutuusa obuweereza okumpi ku bantu n'abasaba okujjumbira okukozesa enkola eno.

Akulira ofiisi ekola ku bantu abafuluma eggwanga e Mbarara, James Lubwama yagambye nti baamaze dda okutendeka abakozi abagenda okuyamba mu kukola omulimu guno kyokka n'asaba okubongeza abakozi singa omuwendo gw'abantu gweyongera.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts