
Bya FLORENCE TUMUPENDE.
DISITULIKITI Khadi w'e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy'enjawulo okuli: Kyazanga Masigid Salaf, Nakateete Masigid Salaf, Lwentale Masigid Mpumudde ne Bijaaba Masigid Salaf okukomya okukola ebiraamo ebivuddeko bamulekwa ne bannamwandu okwazirana.

Kino akitadde ku bayimam b'emizikiti abatamanyi buvunaanyizibwa bwabwe ne badda mu kwenyigira mu kusoma ebiraamo ebiba birekeddwa abagenzi n'abasaba okukikomya kuba si buvunaanyizibwa bwabwe. Agambye nti obuyinza buno buweebwa ba disitulikiti Khadi bokka.
Abakalaatidde okuba abenkanya nga balaama baleme kwekubiira ku ludda lumu oluusi olwokuwa abakyala eby'obugagga ng'ate balina abaana ekintu eky'obulabe.
Mu ngeri y'emu abasabye okukomya okufumbiza abaana abatannaba kwetuuka bave ku mateeka g'Obusiraamu agalagira okufumbiza ku myaka 15 bagendere ku ga gavumenti lwe bajja okwenyumiriza mu Busiraamu.
Ate abazadde abatannaba kuzza baana baabwe ku masomero abasekeredde obutekwasa busongasonga kuba ebbanga lye bamaze n'abaana bano babadde bakimanyi bulungi nti baakuddayo okusoma.