Bya HANNINGTON NKALUBO ne ALICE NAMUTEBI SSEGIRINYA alina wiiki bbiri okutegeka okwewozaako mu musango gwe bamuwawaabidde mu kkooti enkulu nga bamulumiriza okukozesa ebiwandiiko by'obuyigirize ebijingirire okwesimbawo ku kifo ky'omubaka wa Palamenti kye yawangudde mu kalulu akawedde.
Oludda oluwaabi lulaga nti Mohammed Ssegirinnya eyasooka okumanyika ennyo nga "Ddoboozi ly'e Kyebando" yakozesa biwandiiko bya muwala ku bbaluwa ze ez'obuyigirize. Sulaiman Kidandala, eyamuwaabidde ayagala kkooti esazeemu Ssegirinnya (amanyiddwa ennyo ennaku zino nga Mr. Update) era erangirire nti ekifo kiweereddwa Kidandala eyakwata ekyokubiri mu kalulu k'omubaka wa Kawempe North.
Kidandala yayise mu bannamateeka ba M/S ALAKA AND CO. ADVOCATES abaasoose ne bakola okunoonyereza ku biwandiiko by'omubaka Ssegirinya bye yatwala mu kakiiko k'ebyokulonda. Oluvannyuma baawandiikidde ekitongole ekikola ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB ekyabazzeemu nga kibakakasa nti omuntu gwe balina ku bbaluwa mu kitongole mulala.
Ssegirinya yawangulira ku kkaadi y'ekibiina kya NUP era mu palamenti yaggyeeyo omubaka Latif Ssebaggala wabula munne bwe baali balwanira kkaadi ya NUP Sulaiman Serwadda Kidandala eyakwata ekyokubiri ye yamututte mu kkooti ng'agamba nti talina bisaanyizo kuba mu palamenti era ayagala kkooti emusazeemu erangirire ye Kidandala.
Ssegirinya okwesimbawo yatwala empapula ze ez'obuyigirize mu kakiiko k'ebyokulonda nga ziraga nti yatuula era alina ebbaluwa ya S.4 ne S6 okuva mu Pimbas Secondary School okukakasa nti muyivu era ekifo kimusaana. Ebbaluwa okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya Uganda National Examination Board [UNEB] ziraga nti Ssegirinya Richard (ge gaali amannya ge amatuufu nga tannakyusa ddiini kusiramuka kufuuka Muhammad) yatuula S4 mu 2007 n'ayitira mu ddaala eryokubiri era ennamba ye emwawula ku bayizi abalala yali U0053/054.
Yakola amasomo okuli English n'afunamu obubonero buna [4], Christian Religious Education taano [5], History [6], Geography taano [5], Mathematics bunna [4], Agriculture mukaaga [6], Physics ssatu [3], Chemistry buna [4], Biology mukaaga [6] ne Commerce nnya [4]. Yatuula ebibuuzo bya S6 [UACE] mu 2009 ng'alina emyaka 18 ku ssomero lye limu erya Pimbas Secondary School ng'ennamba ye emwawula ku banne eri U0053/754. Yakola amasomo okuli General Paper mwe yafuna ttaano [5] History B, Economics C, Entrepreneurship skills B, Christian Religious Education B Okusinziira ku mpaaba ya Kidandala, ebbaluwa za Ssegirinya eya S4 ne S6 byombi bijingirire kubanga ziri mu manya g'abakazi.
Kidandala ng'ayita mu balooya be aba M/S Alaka & Co Advocates, nga March 15, 2021 yawandiikira ekitongole kya UNEB n'abawa empapula za Ssegirinya ez'obuyigirize nga abeebuuzaako oba nga ntuufu kyokka ebyavudde mu UNEB biraga nti Ssegirinya tebamumanyi n'empapula z'akozesa si zize.
Ebbaluwa ya UNEB eya nga March 17, 2021 eyawandiikiddwa omuwandiisi w'ekitongole, Peter H Anywar eraga nti mu 2007 omuyizi eyatuula ebibuuzo bya S4 (UEC) eyalina ennamba U0053/054 (Ssegirinya gy'agamba nti kwe yasomera) ekitongole kya UNEB kiraze nti si yiye ya muwala ayitibwa Sarah Nampima owa Mengo Secondary School wabula si ya Richard Ssegirinya owa Pimbas Secondary School.
Ate omuyizi eyatuula ebigezo bya S6 (UACE) mu 2009 ng'alina ennamba U0053/754, Ssegirinya gy'ayita eyiye nayo ya muwala Maureen Nabadda eyatuulira mu Mengo Secondary School. Ebbaluwa ya UNEB eyongera okwaniika Ssegirinya nga eraga nti n'ennamba ezenjawulo eziteekebwa ku buli bbaluwa y'obuyigirize okugyawula ku bicupuli "serial Number ", zaali njingirire.
Ku bbaluwa ya S.4 kuliko Serial Number U1884798 ate ku ya S.6 A0964827 nga zino aba UNEB baazeegaanyi nga bagamba ebiwandiiko ebiriko ennamba zino si byabwe era tebalina kye babimanyiiko. Okusinziira ku tteeka erifuga ababaka ba palamenti, omuntu yenna okwesimbawo oteekwa okubeera n'ebbaluwa ya S6 oba egyenkana era Kidandala agamba nti Ssegirinya ebbaluwa tagirina nga kuno kw'asinziira okusaba kkooti enkulu esazeemu obuwanguzi bwe aleme kukiika mu palamenti.
Ssegirinya era bamuvunaana nti amannya g'abantu be yatwala mu kakiiko k'ebyokulonda tegaliiko mikono gimukakasa nti yasembebwa okwesimbawo era nti yeesimbawo mu bukyamu. Bannamateeka era balaze nti Ssegirinya yakyusa amannya okuva mu Mohammed Ssegirinya okudda mu Richard Ssegirinya ng'ekiseera kiweddeko ekikakasa nti omuntu eyawangula mulala si Richard Ssegirinya,.