Thursday, March 4, 2021

Eyateeze muliraanwa n'amutema poliisi emukutte

Eyateeze muliraanwa n'amutema poliisi emukutte

Bya PADDY BUKENYA

POLIISI y'e Mpigi ekutte omutuuze n'emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n'amutema ejjambiya ku nsingo n'ekigendererwa ky'okumutta ng'entabwe evudde ku nkaayana za kibanja.

Nalunkuuma eyatemeddwa.

Titus Mabaale 28, omutuuze w'e Nseke mu muluka gwa Konkoma mu Mpigi Town council yakwatiddwa poliisi y'e Mpigi ng'avunaanibwa okutema muliraanwa we Aisha Nalunkuuma 27.

Mabaale yakutte ejjambiya n'agumba mu lusuku lwa Nalunkuuma gwaludde ng'agugulana naye ku bwannannyini kibanja omuli olusuku.  Nalunkuuma olutuuse ng'anonye ettooke, Mabaale yamutemye ejjambiya ku nsingo kyokka Nalunkuuma n'agyewoma okukakkana ng'emutemye ku nkoona n'okutu.

Titus Mabaale.

Nalunkuuma yakubye enduulu abatuuze omwabadde ne ssentebe w'ekyalo Joakim Kizza ne bamudduukirira ne bataayizza Mabaale ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi y'e Mpigi ne bamuggalira.

Mabaale yategeezezza abaserikale nti Nalunkuuma abadde aludde ng'amubbira amatooke ge, kwe kusalawo okumutema oluvannyuma amutwale ku poliisi amugguleko ogw'obubbi.

 Ssentebe Joakim Kizza alumirizza Mabaale okuteeganga abantu n'abatema nga kati yaakatema abantu basatu ng'agamba nti akola ssaddaaka era n'avumirira eky'abavubuka okukozesa ebiragalalagala.

Kizza asambazze ebigambibwa nti Nalunkuuma abadde abba amatooke ga Mabaale, n'ategeza nti olusuku lwa bba Ssebunnya wadde nga baafunamu obutakkaanya ku bwannannyini bw'ekibanja n'agobwamu wabula ne bamukkiriza okunonayo emmere ye ng'eno Mabaale gyateeze Nalunkuuma okumutemako omutwe.

Mabaale aguddwaako omusango gw'obutemu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts