Wednesday, March 31, 2021

Eyatutte mukazi we ku poliisi ng'amulumirizza okumubba ssente naye bamusibye

Eyatutte mukazi we ku poliisi ng'amulumirizza okumubba ssente naye bamusibye

OMUSAJJA atutte mukazi we ku poliisi ng'amulanga kubba ssente za mukama we obukadde 3 kyokka eyaloopye naye bamuggalidde.
Michael Lubandi ow'omu Kiggundu zzooni e Kawempe ng'avuga loole z'amanda  yateeberezza mukyala we, Christine Namulindwa okubba ssente za mukama we, Milly Akera  gw'avugira amanda n'amuloopa ku poliisi y'oku Kaleerwe n'akwatibwa wabula naye abaserikale baamukutte bombi ne babaggalira
nga kiteeberezebwa nti bandiba nga baaluse olukwe okuzibba.

Akera  mukama wa Lubandi  yagambye  nti bwe baaleese amanda okuva e Gulu, baamaze okugatunda ng'obudde buzibye ng'ate ekibuga takimanyi bulungi, Lubandi we yamugambidde nti ssente  3,800,000/- agende nazo  kyokka kyamwewuunyisizza okumubuulira nti mukazi we yazibbidde awaka.
Lubandi  mu kwewoozaako yagambye nti  bwe yatuuse awaka  ssente zaabadde mu mpale n'afuna w'agiwummuzza kyokka kyamwewuunyisizza okukeera ku makya nga ssente teziriimu kyokka nga mu nju basulamu ne mukyala we n'abaana, kwe yasinzidde okumuloopa ku poliisi.

Lubandi ne mukyala we Namulindwa.  Ku ddyo ye Akera mukama wa Lubandi..
Lubandi ne mukyala we Namulindwa. Ku ddyo ye Akera mukama wa Lubandi..

"Tewali muntu yavudde bweru kubba ssente,  mukyala leeta ssente za mukama wange kuba n'emmotoka gye nvuga si yange kati okubeera mu kkomera ng'omanyi nti wabbye kiba kikyamu," Lubandi bwe yatabukidde mukazi we.

Kyokka Namulindwa yagambye nti bamaze emyaka 11 ne bba nga balina omwana omu.  Yategeezezza nti eyamusibye yakoze kikyamu kuba talina ky'amanyi ku ssente ezaabuze. N'agattako nti gye buvuddeko bajjuzza empapula ne bba ez'okwewolekako obukadde 4 mu kibiina kya Black wabula baabadde baakazijjuzza ne yeekengera nti Lubandi yandigaana okuzisasula. Yayongeddeko nti Lubandi yamugamba nti alinayo omukazi omulala gw'atambuliza amanda ng'abadde yeesunga okulaba ku muggya we kyokka ebyembi yamulabidde ku poliisi.

"Ssebo kirabika oyagadde kundaga muggya wange wabula onjooze bulijjo omung'amba leero mulabye naye ompaayirizza sinnabbako ku ssente zammwe. Kirabika mulina mupango mulala, naye abasajja mujooga." Namulindwa bwe yategeezezza
Oluvannyuma bakkaanyizza ne bayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts