Tuesday, March 2, 2021

Kkooti etandise okuwulira omusango abatuuze b'e Nakawa gwe bavunaana KCCA

Kkooti etandise okuwulira omusango abatuuze b'e Nakawa gwe bavunaana KCCA

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y'okuwulira omusango gw'abatuuze b'e Nakawa abaasengulwa ku luguudo lw'eggaali y'omukka mu 2014 gwe bawawaabira ekitongole kya KCCA.

Agaanye okuggya eyali akulira ekitongole kino, Jennipher Musisi mu musango guno nga munnamateeka wa KCCA, Doreen Tusiime bw'abadde asabye. Baabadde mu kkooti ye by'ettaka ku Twed Towers mu Kampala nga yatudde okukkaanya ku bye bagenda okugoberera nga bawoza omusango.

Tusiime yagambye nti teyaweereddwa biragiro biwolereza eyali akulira ekitongole kya KCCA Jenipher Musisi, akulira okuteekerateekera ekibuga Kampala, Moses Atwine n'eyali akulira ebikwekweto bya poliisi mu KCCA, Kituma Rusoke kubanga tebakyali bakozi mu kitongole kino.

Wabula omulamuzi Nyanzi yagambye nti kino tekisoboka kubanga emisango gye babavunaana baagikola ku lwa KCCA ate nga Tusiime kye kitongole kyakikiridde. Bano abatuuze babavunaana okujeemera ebiragiro by'omulamuzi Flavia Nassuna ekyali kibagaana okubamenya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts