Wednesday, March 10, 2021

Magogo alabudde abazannyi ba Hippos ku bya ppulo

Magogo alabudde abazannyi ba Hippos ku bya ppulo

Bya GERRALD KIKULWE                                                                                                                                                           PULEZIDENTI w'ekibiina ekiddukanya omupiira (FUFA), Moses Magogo abuuliridde abazannyi ba Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 20) obutapapa kusamba ‘pulo' wadde nga baataddewo omutindo omulungi mu mpaka za Afrika.

Yasinzidde ku wooteeri ya Imperial Golf View e Ntebe ku mukolo gw'okwaniriza Hippos okuva mu mpaka za Afrika e Mauritania. Yakutte kyakubiri nga yakubiddwa Ghana (2-0) ku fayinolo. Magogo yagambye nti ebitone bya Bannayuganda bangi bifudde olwa bakayungirizi ababapika okugenda okuzannya ‘pulo' nga tebannatuuka. Bano babeera batunuulidde ssente ez'amangu ne batafaayo kukakasa oba ekitone ky'abasambi kiyidde.

"Kituufu mwaweesezza eggwanga ekitiibwa olw'omutindo gwe mwayolesezza era tetulina kwemulugunya olw'obutawangula kikopo. Wabula tewabaawo abalimba nti mutuuse okuzannya ogw'ensimbi. Nsaba omupiira muguwe obudde nga bwe twongera okubazimba," Magogo bwe yabagambye.

Yabasabye okukuuma empisa buli gye balaga, awatali kumera bwebindu na malala olw'okuba bava mu za Afrika. "Eno ntandikwa ate ekirala mwewale okuganza abakazi kuba ekitone kiyinza okuyita awo." Guno gwe mulundi ogwasoose Uganda okwetaba mu kikopo ky'abali wansi w'emyaka 20 mu bbanga ly'emirundi 23 gye kitegekeddwa.

Kapiteeni Gavin Kizito ne Derrick Kakooza, eyasinze abateebi ne ggoolo 5, ssaako omutendesi Morley Byekwaso be baalondeddwa mu ttiimu eyasinze mu mpaka zino.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts