Saturday, March 6, 2021

"Musabire abakulembeze bammwe mu ddiini'

"Musabire abakulembeze bammwe mu ddiini'

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n'okunyolwa ku kigo ky'e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu waabwe omuggya n'okusiibula abaddeyo.

Bwannamukulu omuggya ye Fr. Godfrey Kato Ssemwogerere eyavudde mu kigo kya Mengo - Kisenyi ng'ono yatuukidde mu nduulu n'emizira. Ekitambiro ky'e Mmisa kyakulembeddwa abadde bwannamukulu, Fr. James Ssebayigga nga mu kifo kino amazeemu emyaka 14.

Bwe yabadde ayigiriza, Fr. Ssebayigga yasabye Abakristu okusabira abakulembeze baabwe mu ddiini okulaba nga batuukiriza obutume bwabwe n'obuweereza eri Abakristu. N'abasiima olw'ebbanga ly'amaze ng'ali nabo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts