Bya LAWRENCE KIZITO
OMUBAZI w'ebitabo bya Gavumenti, John Muwanga afulumizza lipooti ku nsaasaanya y'ensimbi mu bitongole bya gavumenti n'alabula ku bbanja Uganda lyebanjibwa, eryeyongedde ennyo. (Ebif. Bya Lawrence Kizito)
Lipooti era erambika ne ku miziziko egiremesezza obuweereza bwa gavumenti okutuuka ku bantu n'ewa amagezi ku ngeri gavumenti gy'eyinza okuvvuunukamu embeera eno.
Muwanga lipooti eno yajanjulidde Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga mu nsisikano gye yabaddemu naye ku Palamenti. Alambise nti mu myaka esatu egiyise wakati wa 2017 ne 2020 ebbanja eribanjibwa Uganda lizze lyeyongera okuva ku Buwumbi 3,350 (Tuliriyoni 33.5) okutuuka ku buwumbi 5,683 (Tuliriyoni 56.83). Kino kitegeeza nti ebbanja likuze ebitundu 70 ku 100 mu myaka esatu egiyise.
Keto Kayemba omumyuka wa John Muwanga ategeezezza Sipiika nti ssinga Uganda tekendeeza ku kwewola, obusobozi bwayo obwokwewola ssente bwandiggwaawo ekintu ekijja okulemesa Bannayuganda abajja maaso okwewola.
Awadde gavumenti amagezi okugaziya ku misolo gyesolooza n'okukendeeza ku nsaasaanya yaayo ku bintu ebisobola okwewalika, kisobozese eggwanga okubeera ne ssente ezimala okukola emirimu gyayo n'okukendeeze ku ssente ezeewolebwa.
Lipooti era eraze engeri enyongereza za Bajeti eziyisibwa Palamenti bwe zizingamizza emirimu mu bitongole ebimu ebya Gavumenti kubanga ziyisibwa naye nga teziriiko makubo wagenda kuva ssente, ekiwaliriza gavumenti okusala ssente za Minisitule n'ebitongole ebirala okusobola okufuna ssente za Bajeti eno.