Wednesday, March 3, 2021

Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah azuukidde

Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah azuukidde

Bya LAWRENCE KIZITO                                                                                        

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n'entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti ekiddako alabiseeko mu Palamenti ku Lwokusatu ng'agikubiriza omulundi ogusoose mu bbanga lya mwaka mulamba lyamaze nga talabikako.

Minisita Sarah Opendi ng'anyumyamu n'Omubaka Baba Diri (atudde ku katebe) oluvannyuma lw'olutuula lwa Palamenti ku Lwokusatu.

Oulanyah okukubiriza Palamenti kiddiridde Sipiika Kadaga okufiirwa omu ku wooluganda lwe nga mu kiseera kino ali mu kukungubaga.

Wabula ababaka abakkiririza mu Oulanyah balaze essanyu olw'okumulabako ne bamukulisaayo gyabadde ne bamusabira abeerewo agende mu maaso n'okukubiriza Palamenti ne mu kiseera ekijja mu maaso. Embeera ya Oulanyah okwegwanyiza entebe ya Sipiika yaleetawo dda obukuubagano wakati we ne mukama we Kadaga.

Ababaka aboogedde mu lutuula luno ne baaniriza Oulanyah kubaddeko Ruth Nankabirwa (mukazi Kiboga), Jonathan Odur (Erute County) ne Alioni Yorke Odria (Aringa South) nga bayozaayozezza Oulanyah olw'obuwanguzi bwazze atuukako omuli okufuuka omumyuka wa Ssentebe wa NRM mu bukiikakkono bw'eggwanga n'okuwangula ekifo ky'Omubaka akiikirira Omoro mu Palamenti.

Ku Lwokubiri, Omubaka Margaret Baba Diri (mukazi/Koboko) yabuuzizza Sipiika Kadaga wa Oulanyah gye yabulira, Kadaga n'amuddamu nti "Ojja kumulaba", era ku Lwokusatu n'ayingirawo.

Oulanyah olutuula lwa leero alusazizzaamu olwa Sipiika Kadaga okuba ng'ali mu kukungubaga n'asalawo Palamenti eddemu okutuula enkya nga March 3,2021 ku ssaawa ttaano ez'oku makya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts