JULIET Underwood (wakati) amanyiddwa nga Sharon eyali azannyira mu Ebonies abantu olumulabyeko ne batandika okumubuuza gye yabulira eno nga bwe beekubya naye selfi e. Gye buvuddeko Underwood yava mu Ebonies ng'abawagizi be gye baali bamulabira.
Yazzeemu okulabikako bassereebu bwe beenyigidde mu kwoza mmotoka mu kusonda ssente z'okujjanjaba Evelyn Lagu ku Papaz Spot e Makindye. Bwe baabuuzizza Underwood gy'abulidde bakira abaddamu nti emirimu agikola era akyanyirira!