Saturday, March 13, 2021

Wakati wa 200,000/- ne 600,000/- ogula ekyuma ekiddaabiriza ssoole z'engatto ne weekozesa

Wakati wa 200,000/- ne 600,000/- ogula ekyuma ekiddaabiriza ssoole z'engatto ne weekozesa

OKUDDAABIRIZA engatto gwe gumu ku mirimu egifuna ate nga tegwetaaga ntandikwa ya maanyi singa oba amanyi eky'okukola.

Tekinologiya nga bw'azze akyuka mu nkola ya buli kintu, okuddaabiriza engatto kwavudde mu nkola ya bulijjo ey'amaanyigakifuba ne kudda ku byuma by'amasannyalaze. Buli kimu kitundibwa okuva ku 200,000/- okutuuka ku 600,0000/- okusinziira ku maanyi.

Ebyetaagisa mu mulimu guno:
Obumanyirivu kikulu nnyo mu nkozesa yaabyo ssaako n'obukugu mu kukola engatto.
Okufuna ekifo ekiyinza okukukolera ssaako n'okwanguyiza abantu naddala abatali bakasitooma bo abaabulijjo okukulabawo amangu.

Engeri gy'okolamu ssente:
Okuddaabiriza ssoole y'engatto kutandikira ku 3,000/- okutuuka ku 15,000/- oluusi n'okusingawo okusinziira ku biki eby'okukolako.

Eky'enjawulo ekirimu buli ekiggyibwa ku ngatto nate kisobola okusalibwako ekitundu ekiramu ne kiteekebwa ku ndala.

Ekyuma kino kiwawula agawendo omukolebwa ne kisobozesa ggaamu okukwata
obulungi. Kye kiwagala n'obwambe obweyambisibwa okukomola engatto.

Okugaziya omulimu:
Osobola okugaziya omulimu guno ng'otambula mu bitundu mu maka g'abantu ng'ogenda obasaba engatto ez'okuddaabiriza kubanga abantu bangi babeera nazo mu nju naye nga bagayaala okuzitwala okuziddaabiriza.  Kino nno n'abaddaabirizanga esseffuliya baakikolanga.

Mu ngeri y'emu oyinza okubaako amasomero g'ebisulo ge weekwata
ng'oyitayo omulundi nga gumu mu mwezi n'ebyuma byo n'osiiba eyo ng'okola.

Binnyonnyoddwa Edie Masinde omu ku bakozesa ebyuma bino ku Kaguje
Road e Katwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts