Abantu mweggyemu emitima egy'obuggya, fitina n'obukyayi kuba bizing'amya enkulaakulana y'ebitundu.
Fr. Joseph Kyakuwadde yabatizza abaana 77 ne yennyamira nti omusanvu gwokka be bazaaliddwa abafumbo ab'empeta ng'abasigaddewo bonna bakyalemeddwa okusalawo.
Yababatirizza mu Eklezia y'Ekigo kya St. Jude Lukaya n'akalaatira abazadde n'ababajulidde mu Batisimu nti buvunaanyizibwa bwabwe okubanywereza mu kisibo kya Kristu mwe bayingiziddwa.
Fr. Kyakuwadde yakubirizza buli muntu okusabira eggwanga libukalemu emirembe ate n'okusonyiwagana mw'ebyo ebibeera bibasowaganyizza nga Yezu bwe yasonyiwira ku musaalaba bonna abamujolonga n'okumubonyabonya.
Yagasseeko nti obuggya,fitina n'obukyayi nga bikyamaamidde emitima gy'abantu tewayinza kubaawo mirembe ng'abamu bakwatirwa ensaalwa ababasukkulumyeko ne babazza emabega n'oluusi okubatta babibalese.
Abazadde ababuuliridde okuwa ekifaananyi ekirungi mu maaso g'abaana baabwe kuba bwongo bwabwe bukulira nnyo mu kukoppa ebibeetoolodde ne babitwala nti by'ebituufu.
Yasabidde abafumbo abatannagattibwa nti Katonda abakwatizeeko mu kusalawo amangu beggyeko ekibi obutakkitizibwa mu nnono y'Eklezia.
Fr. Kyakuwadde ng'aggumizza ensonga eno yawaddeyo ssente 60,000/- ze baamuwadde ng'akasiimo k'okubabatiriza abaana nti zisomwemu ebitambiro bya Mmisa y'abaagalana bano basobole okulongoosa obufumbo.