Bya TONNY KALYANGO
ABASUMBA okuli ow'essaza ly'e Masaka n'Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby'okutyoboola eddembe ly'obuntu ebyefuze omwaka oguwedde na guno ng'abantu bangi bakyanyiga biwundu n'okutuusa kati. Bagumizza abayita mu kunyigirizibwa nti beyambe Amazuukira gongere okubasembeza ku Katonda waabwe.
Bino bibadde mu bubaka bwabwe obw'Amazuukira bwe bawadde abakkiriza. Omusumba w'essaza ly'e Masaka, Serverus Jjumba asinzidde mu makaage e Kitovu n'ategeeza nti obulwadde bwa Ssennyiga omukambwe bukosezza nnyo abantu mu geri ez'enjawulo abantu bangi ne bafa okuli n'omusumba John Baptist Kaggwa kyokka ate n'abalala bangi abakoseddwa olw'ebikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu nga bikolebwa abo abalina obuyinza.
Yayongeddeko nti embeera eno yasinga kusajjulwa kulonda ng'ebiseera by'okunoonya akalulu byajjula effujjo era abantu bangi baafuna ebisago abalala ne bafiira mu busambattuko wakati waabwe n'abakuuma ddembe. Yasabye aboobuyinza okuteekawo embeera ewozesa abo abaakwatibwa mu bwenkanya.
Bp. Jjumba yajjukizza Abakristu b'essaza lino ku kkatala ly'okutegeka okulamaga kw'e Namugongo nga June 3 eryabaddiziddwa n'abasaba bonna okusitukiramu. Yayozaayozezza abakulembeze bonna abalondeddwa n'abakubiriza okufuba okulwanirira emirembe n'obwenkanya mu buweereza bwabwe.
Omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba ye obubaka bwe yabwesigamizza ku kugumya famire zaabo abazze batusibwako ebizibu ebitali bimu omuli abafiira mu kiseera ky'okunoonya akalulu, ababuzibwawo n'abo abazze basuulibwa naye nga balina ebisago eby'amaanyi ebitabasobozesa kuddamu kwekolera nga n'abalala tebaddangamu kulabikako.