Bya NICHOLAS KALYANGO
Ttiimu eno emaze wiiki ssatu mu nkambi e Kabaale gyebadde etendekebwa nga wiikendi eno lw'erina okusitula okwolekera Sierra Leon.
Ekibinja kya bavuzi 18 okuli ab'omutendera gwa bakafulu 6, abasajja (6), abakazi (6) n'ogw'abato 6 be bagenda okukiikirira eggwanga.
Tour de Lunar ze zimu ku mpaka ezisinga okuwebwa ekitiibwa mu Afrika nga Bannayuganda batunuulidde kukoleramu bulungi basobole okufuna obubonero obubayisa mu mpaka endala.
Aziz Sempijja kapiteeni wa ttiimu, alina essuubi nti bagenda kukola bulungi mu mpaka zino.
Uganda yakwata kyakutaano mu za ‘Africa road race championship' ezaali e Misiri omwezi oguwedde.
Mu nsegeka z'obugaali, Uganda yaamwenda mu Afrika ate mu nsi yonna ekwata kya 74.