Bya ISMAIL MULANGWA
AMAWANGA munaana ku 24 agakiika mu 2019,mu mpaka za AFCON e Misiri gasubiddwa okwetaba mu mpaka z'omwaka guno ezigenda okuyindira e Cameroon nga baakuzirabira ku ttivvi.
Abaaliko bannantameggwa b'empaka zino aba South Afrika mu 1996, be bakulembedde olunyiriri lw'amawanga agasubiddwa empaka z'Afrika nga baakubwa Sudan mu mupiira ogwabaddeko obugombe era Sudan yali yakoma okuzannya mu mpaka zino mu mwaka gwa 2012.
Mu 2019 e Misiri, South Afrika yakoma ku luzannya lwa quarter fayinolo oluvannyuma lw'okumegga abaali abategesi aba Egypt ku luzannya lwa ttiimu 16.
Amawanga amalala kuliko: Uganda eyawanduddwamu Malawi nga guno gw'emulundio gwaayo ogusoose oluvannyuma lw'emyaka 50, Kenya,Tanzania,Burundi,DR Congo,Madagascar ne Namibia abaaliyo mu 2019 e Misiri.
Amawanga agayiseemu okuzannya e Cameroon kuliko; Algeria, Burkina Faso, Cameroon, Cape Verde, Comoros, Cote d'Ivoire, Egypt, Ethiopia, Equatorial Guinea, Gabon, Ghana, Gambia, Guinea, Guinea Bissau, Malawi, Mali, Mauritania, Morocco, Nigeria, Senegal, Sudan, Tunisia, Zimbabwe nga kuno kubulako ttiimu emu wakati wa Benin ne Sierra Leone.
Agaakiika e Misiri mu 2019 kwaliko: Algeria, Angola, Burundi, Cameroon, Cote d'Ivoire, Egypt, Ghana, Guinea, Guinea Bissau, Mali, Madagascar, Morocco, Nigeria, Senegal, Uganda, Mauritania, Kenya, Tunisia, Zimbabwe, Namibia, DR Congo, *Benin*, Tanzania ne South Africa.