Bya Paddy Bukenya ne Denis Kizito
BAZADDE b'omwana eyafiiridde ku ssomero bakoze olutalo n'abasomesa nga babalumiriza okubeera ne kye bamanyi ku nfa y'omwana waabwe ne basaba minisita w'ebyenjigiriza okuyingira mu nsonga zaabwe.
Omukozi wa KCCA Charles Isabirye ne Fatumah Nampiima abatuuze b'e Nakigalala - Kajjansi bazadde ba Mahad Male 11 eyafiiridde ku ssomero lya Good Mummy Junior School Buddo ku ntandikwa ya wiiki eno be bakoze olutalo nga baagala akulira essomero lino abannyonnyole enfa yomwana waabwe okukkakkana nga balwanaganye n'abasomesa alikulira bw'abeesimatuddeko n'adduka.
Bano abaabadde mu maziga basoose kugumba ku ggeeti y'essomero lino nga baagala essomero liveeyo libannyonyola ekyaviiriddeko omwana waabwe okufa.
Oluvannyuma omukuumi yabaggulidde ne bayingira ofiisi y'omukulu w'essomero kyokka baavudde mu mbeera ne bakubagana n'okwegwa mu malaka omukuumi bwakyusizza sitaatimenti n'abategeeza nti omwana waabwe yava ku kalina waggulu nagwa n'afa.
Nga tebanava mu mbeera baasoose kulagira basomesa babayitire heedimasita kyokka bwe baabategeezezza nti taliiwo ne batabuka ne balwanagana n'abasomesa era abatuuze be baabataasizza.
Mu busungu obungi baayingidde mu bibiina byonna ne ofiisi ez'enjawulo nga bawenja heedimasita n'ababula ne basalawo okutwala ebintu by'omwana waabwe.
Male yafa ku Mande ya wiiki eno ku makya omukulu w'essomero n'ategeeza sbazadde nti yabadde alwana ne muyizi munne n'amusamba ku mutima n'afa kyokka oluvannyuma n'akyusa nti yakubiddwa kikonde mu lubuto ekyatabudde abazadde.
Okusinziira ku maama w'omwana, Fatumah Nampiima agamba nti omulambo gwabaddeko ebiwundu eby'amaanyi mu maaso.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Oweyesigire ategeezezza nti ensonga z'omwana bakyazinoonyerezaako kyokka n'agumya abazadde nti omulambo gwekebejjebwa era baakuzuula ekituufu.