Monday, April 5, 2021

'Gavt enoonyereze ku nfa ya Ssaabasumba n'okulekulira kwa Supreme Mufti'

'Gavt enoonyereze ku nfa ya Ssaabasumba n'okulekulira kwa Supreme Mufti'

MEEYA w'e Kawempe asabye gavumenti okunoonyerezza ku ngambo eziyitingana ku nfa ya Ssaabasumba n'okulekulira kwa Supreme Mufuti n'asaba Bannayuganda obuteyawulamu ku biriwo mu kiseera kino.

Dr. Emmanuel Sserunjogi yasinzidde mu kusaba Paasika mu kkanisa ya Christian Life Church ey'Omusumba Jackson Ssenyonga e Makerere Kavule eggulo.

Emmanuel Sserunjogi Ne Mukyala We Mu Kusaba Ku Christian Life Church E Makerere Kavule (1)

"Ffe mu byobufuzi buli lugambo tulutwala ng'olutuufu, we tusabira buli lugambo oluyitingana ku nfa ya Lwanga n'okulekulira kwa Supreme Mufuti lunoonyerezebweko'' bwe yagasseeko.

Yagambye nti n'okulekulira kwa Supreme Mufuti nakwo kulina okunoonyezebwako kuba abantu abangi balina ebibuuzo nga buli omuli alina ‘ansa' ya njawulo.

Yasabye  n'embeera ey'okuwamba abantu n'emivuyo emirala ababikola okwekuba mu mitima babikomye mbagirawo .

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts