EKITONGOLE kya KCCA kiyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'e Mulungu ku nkulungo y'e Munyonyo, erikaayanirwa abagagga ababiri okuli Emma Byekwaso ne Fredrick Mutebi Kitaka okuzuula omutuufu yaani.
Abakungu abavudde mu KCCA bakulembeddwaamu Dr. Richard Irumba okuva mu kitongole ekiteekerateekera ekibuga ne Geoffrey Rwakabaale eyakiikiridde dayirekita wa KCCA. Bano bagambye nti bazze mu kifo kino okulaba ekituufu ekigenda mu maaso kubanga Byekwaso bwe yawaayo pulaani ye bagiyise mu KCCA azimbeko ate Fredrick Mutebi Kitatta n'abatuukirira ng'agamba nti ono talinaawo ttaka.
KCCA yasoose kulagira olukiiko lutandike ekyatabudde aba Byekwaso nga bagamba nti lwaki Kitaka abajooga nga bwatyo buli offiisi gy'agenddamu bw'etuuka okujja ku ttaka ate Kitaka akaayanira awatali wuwe avaawo nga ne leero bw'akoze alabye aba KCCA bayingira n'avaawo.
Aba KCCA bakubidde Kitaka essimu n'agamba nti olukiiko baluyita ku ssaawa 4:00 ez'oku makya era yatuusseewo mu budde wabula bw'alinze okutuuka ssaawa 6:00 ogw'omu tunttu nga tabalaba n'avaawo okugenda okukwasaganya emirimu gye emirala era Byekwaso bwawulidde nga waliwo aba KCCA abasaagira mu nsonga eno naava mu mbeera n'ayagala okubalumba era ne bamukwata.
"Nze ndi musajja musuubuzi amala okwetegereza nga ngula buli kintu kye ngula, ettaka ssi bigambo wabula mpapula nze desimolo zange 38, okuli ebyapa ebisatu. Naligula ku Mulangira Mawanda Nnamugala era ekirungi wali era ye yamuguzaako ku ttaka erimu lyalina eririraanye eryange," Bwatyo Omugagga Emma Byekwaso bwe yategeezezza.
Bino Byekwaso abyogeredde mu lukiiko aba KCCA lwe bayise mu kifo ababiri bano okuli Emma Byekwaso ne Fredrick Mutebi Kittaka lye bayakaanira e Mulungu - Munyonyo nga Kittaka agamba nti wano Byekwaso talinaawo ttaka ate nga Byekwaso alumiriza nti alinawo ettaka era eyamuguza ye Mulangira Mawanda waali mulamu.
Wano aba KCCA bawadde oludda lw'Omulangira Mawanda Namuggala eyaguza abantu bano ku ttaka lyabwe era Omulangira Henry Mukaabya akiikiridde kitaawe Mawanda n'annyonnyola nti kituufu ababiri bano bonna baabaguza ku ttaka lyabwe naye wano awakaayanirwa Kitaka w'agamba nti Byekwaso talinaawo ttaka ssi kituufu kubanga baamuguzaawo era alinawo desimolo 38, nga ne Kitaka alina poloti ze bamuguza ku ttaka lyabwe okulinaana erya Byekwaso naye nga bya njawulo.
Agamba nti abakungu abakola mu by'ettaka okuva e Ntebe bajja mu kitundu kino ne bapima era nga Kitaka ye yabaleeta ne bakkaanya naffe nti ettaka lya Byekwaso weeriri era alina ebyapa.
EMMA BYEKWASO ANNYONNYODDE ; Nze bwe nagula ettaka lino nagenda ew'Omulangira Mawanda n'ampa kkopi yalyo ng'ebyapa biri mu UNRA era ne bakkaanya asooke alisaleko ku lya UNRA lye yagula ku Mulangira.
Era bwe byafuuka ebyapa Omulangira Mawanda n'anguzaawo ku Block 255, poloti ssatu okuli 1786, 1784 ne 1788 ate erya Kitaka liri ku Block yeemu ku poloti 1749 , 1751 ne 1189. Era tebikwatagaana buli omu alina ettaka lye.
Wabula ekyamazeemu amaanyi ngenda okwewola ssente mu bbanka nkulaakulanye ettaka lyange bwe natwala pulaani mu KCCA ate Kitaka nagiyingirawo nti sirinaawo ttaka kyokka ate KCCA ezze okulaba by'ayogera bw'alabye nga batuukawo n'asimbula mmotoka ye n'agenda ate omutuufu aduukira ki ? Ng'ate kino azze akikola emirundi egiwera.
FREDRICK MUTEBI KITTAKA AYOGEDDE:
Bukedde bwe yatuukiridde Kitaka ku ssimu okumubuuza ku nsonga zino yagambye nti tayagala kumanya kubanga eby'ettaka tebabiwoleza mu mawulire wabula Byekwaso bwakakasa nti alinawo ettaka alitwale ye ajja kuvaawo naye ky'amaanyi nti talinaawo ttaka.
"Nsaba Byekwaso ne banne balindeko KCCA, ekirungi y'erina ensonga zino ng'ate bakugu bakole ogwabwe balinde ekinaavaamu okuzuula omutuufu yani?". Bwatyo Kitaka bwe yategeezezza ku ssimu.
Ye omukungu Irumba okuva mu KCCA yagambye nti ekirungi balabye buli kye beetaaga era n'oludda lwa Byekwaso ne lubannyonnyola kati bagenda kufuna obudde mu wiiki eno bayite Kitaka ku KCCA abannyonnyole ng'era bagenda kuyita n'oludda lwa Byekwaso, Omulangira ssaako ‘saveeya' waabwe olwo babawulirize nga bonna weebali oluvannyuma bagenda kuddamu okupima ettaka lino nga buli ludda lulina ‘saveeya' walwo ssaako n'owa gavumenti.