Monday, April 19, 2021

Kibadde kijobi nga Fr. Kyakuwadde ajaguza emyaka 50 mu Busaseredooti

Kibadde kijobi nga Fr. Kyakuwadde ajaguza emyaka 50 mu Busaseredooti

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu.

Zino zipangisiddwa Fr. Joseph Kyakuwadde okusanyusa abagenyi be n'okubabeesabeesa ku kijjulo  ky'abagabudde ng'ajaguza emyaka 50 mu Busaseredooti.

Fr. Joseph Kyakuwadde   Abagenyi Nga Beemisa Kabbiya.

Fr. Joseph Kyakuwadde   Abamu Ku Bagenyi Ababadde Ku Mukolo.

Fr. Joseph Kyakuwadde  Bano Nabo Nga Balaga Kye Balinawo.

Fr. Joseph Kyakuwadde Ng'ali Ne Banne Baseka.

Fr. Joseph Kyakuwadde  Omugenyi Ng'attuka N'omuzinyi.

Fr. Joseph Kyakuwadde  Omuzinyi Ng'asanyusa Abantu.

Abasajja abamu amazina g'abakute omubabiro ne batunka n'abazinnyi ekiwadde Fr. Kyakuwadde ne Bwannamukulu we Fr. Paulo Mukasa essanyu.

Abagenyi beemiisizza otwenge n'ebyokunywa ebirala n'okulya ekyongedde omujaguza essanyu ng'omugoma Mathias Ssenkubuge  n'abagoma be bwe boogezza ebisoko by'engoma n'abazinnyi okunyeenya ebiwato ng'omutali magumba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts