LOODI Mmeeya Erias Lukwago akomyewo okuva mu ddwaaliro e Nairobi n'ayogera ku ngeri obulwadde gye bwamukwata mu Lutikko e Lubaga n'agenda ng'ali mu mbeera mbi.
Yagambye nti, baamuggya mu Klezia ng'ali mu mbeera mbi, ng'olubuto lumuluma nnyo, ekifuba kimutujja okufa nga ne kamunguluze awulira mungi nnyo.
Lukwago obulwadde bwamukwatira mu Lutikko e Lubaga ku Mmande nga April 5, mu Mmisa eyali ey'okusabira omwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga, abayambi be ne bamufulumya ebweru ng'embeera etabuse.
Olwaleero atuuse ku kisaawe e Ntebe ku ssaawa 9:35 ez'emisana ng'ava e Nairobi mu Kenya gy'abadde ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Nairobi Hospital okumala wiiki bbiri.
Yagenda ne mukyala we Nnaalongo Zawedde Lukwago gwe yakomyewo naye ku nnyonyi ya Kenya Airways.
Wadde yalabise ng' asaze omubiri nga n'obukoowu mukoowu kyokka yabadde musanyufu ne mukyala we okukomawo mu ggwanga nga mulamu.
Bwe yabadde tannalinnya mmotoka emuzza mu maka ge, yategeezezza nti, ‘Nkomyewo sirina bulumi bwonna era neebaza abasawo abakoze kaweefube yenna naddala Polof; Godfrey Lule anzijjanjabye.'
Lukwago yagambye nti, obulwadde buyisizza mu mbeera enzibu ennyo, yasooka ne yeeraliikirira okumulinnyisa ennyonyi ng'ali mu bulumi obw'amaanyi n'agattako obudde bwe yali agenda okumala nga tannalaba basawo ssaako n'ebyuma bye baali bagenda okukozesa okuzuula obulwadde n'alaba nga byonna ayolekedde buzibu.
Yannyonnyodde nti, Katonda yamuyambye, yatambula bulungi n'alaba abasawo n'ebyuma bye baakozesezza okumwekebejja n'atabifunamu buzibu.
Yagambye baamwekebeze enfunda mukaaga okuzuula ekimuluma ne bazuula ng'ebitundu bye eby'omunda naddala omutima, ensigo ne mu kifuba nga byonna biramu ne bamuwa eddagala eriggyawo obulumi bwonna bwe yagenda awulira.
Yagambye nti, abasawo tebaamutaddeko bukwakkulizo bwonna n'agamba nti, ‘Ngenda kutandikirawo ku lutalo oluli mu butale, mbadde eyo ng'ennaku ennuma okulaba ng'obukulembeze mu butale bwafuuse bwa kuwamba buli ayagadde. Ngenda kutandikirawo ntereeze embeera.'
Yayongeddeko nti, tebaamuwadde kakwakkulizo konna obutasisikankana bantu n'agamba nti, agenda kulaba abantu buli alina obwetaavu ssaako okumaliriza emirimu emingi gye yaleka mu ofiisi ye.