FAAZA Joseph Lugobe owa St. Agnes Kibuye-Makindye y'omu ku baludde ne Dr. Lwanga okuva obuto. Anyumirizza Margaret Zalwango omukwano gwabwe:
Nze ne Lwanga twava mu mukwano ne tufuuka baaluganda. Abadde mukama wange kyokka buli lwe tusisinkana ng'ambuuza nga muganda we.
Twasisinkana ne Dr. Lwanga nga tuli bato tusoma. Twaddamu okukwatagana e Katigondo ne tufuuka bamukwano nnyo. Mu mwaka gwaffe twali Abasemiririiyo 12. Mukama abadde akyatukuumye naye kati tusigadde 10 oluvannyuma lwa Dr. Lwanga okufa.
E Katigondo twatuulanga ku ntebe emu (desk) ne Lwanga. Twasoma ne Vika Genero wa Kampala, Musenyori Charles Kasibante, Fr. Mbaleeba ow'e Bbiina, Fr. Andrew Zziwa ow'e Bunnamwaya, Fr. Dominic Mwebe e Nansana, Fr. Charles Lugenda, Fr. Paul Muganga, Fr. Antonio Waluta ow'e Lugazi, Fr. John Mukasa Ssebaana ne Fr. Fredrick Kazibwe. Fr Antonio Katumbula Lubinge ye yasooka okufa.
Bwe twafuna obwafaaza nze nnaweebwa okukulira eby'entendeka mu ssaza
ekkulu erya Kampala olwo nga Kampala tannasalwako Kasana - Luweero ne Lugazi.
Twakola ne Lwanga okutuusa lwe yalondebwa okuba omusumba wa Kasana -Luweero.
E Luweero, Lwanga yakola okusinga bwe yali asuubirwa kubanga essaza lyali ppya ate
nga naye akyali muvubuka.
Yanneebuuzangako bye yayagalanga okukola e Luweero ate bwe yafuuka mukama wange nga Ssaabasumba wa Kampala era abadde anneebuuzaako ku bintu bingi. Nange mbadde mwebuuzaako okusooka nga muganda wange olwo ekya mukama wange ne kiddako.
Lwanga bwe yasindikibwa e Kasana - Luweero ate nze nnatwalibwa mu luwummula
ebweru. Bwe nnadda ne bansindika e Lweza n'oluvannyuma St. Agnes.
Abadde afuba okulaba ng'Abasosodooti bali bulungi. Lwanga abadde asensedde
mu bulamu bw'abantu baabulijjo ne bannaddiini. Ajja kuba muzibu okuzzibwawo
olw'ebitone bye ebitasangika. Abadde awuliriza ensonga z'Abasosodooti.
Ebigo bingi bigguddwawo ng'ali e Luweero ne Kampala. Akoze nnyo okutandika amasomero ku musingi gwa Ekleziya n'okuzza obuggya agali obubi. Yayamba nnyo mu kuzimba Kleziya ya St. Agnes Kibuye.
Mmwewuunya okwagala eddiini kyokka n'ebyobuwangwa ng'abissaamu nnyo ekitiibwa.
Twajaguza ne Lwanga emyaka 40 mu busosodooti. Tubadde tugenda kujaguza
43.
Kristu yawangula okufa era Lwanga naffe tuwangulira wamu ne Kristu.