Friday, April 23, 2021

Museveni asazeewo ku lipoota ya Bamugemereire

Museveni asazeewo ku lipoota ya Bamugemereire

OMULAMUZI Catherine Bamugemereire  asomesezza ababaka ba NRM abali e Kyankwanzi ku by'ettaka  n'awa amagezi nti okumalawo ekibbattaka n'emivuyo emirala egy'ettaka egiriwo mu ggwanga, ettaka lyonna okuli nery'obutaka  liteekeddwa okuwandiisibwa.

Pulezidenti Museveni yakkaanyiza n'ekya  Bamugemereire n'ategeeza nti agenda kufuba okulaba nga n'ebyafulumizibwa mu lipoota ekwata ku by'ettaka bissibwa mu nkola.

Omulamuzi Bamugemereire yayanjulide ababaka abapya ebyava mu kunoonyereza ku ku nsonga z'ettaka  ebiri mu lipoota gye yakola nga bino bijja kubayambako okuteeseza n'okuyamba abantu baabwe mu palamenti ku nsonga ezeekusa ku ttaka .

Okunoonyereza kulaga nti abantu abasinga mu Uganda basula ku teebukye olw'okubagobaganya ku ttaka naddala abali ku ttaka ly'obwannannyini (customary) kyokka nga naabo abalifunako obwannannyini abamu baalifuna mu bumenyi bw'amateeka.

" Ababbi b'ettaka abasinga be bantu abalina ku ssente era nga bali bulungi era beeyambisa embeera eno okugulirira abakozi mu offiisi za gavumenti ezikola ku by'ettaka olwo ne babawa obwannannyini mu bumenyi bw'amateeka, ". Bamugemereire bwe yategeezezza .

Yagasseeko nti era batunulide okutondawo akakiiko ak'enkizo kongere okwekeenenya obumulumulu obukyasigalide naddala ku ttaka ly'obwannannyini ( customary land ).

Mw. Robert Kasule nga y'omu ku baali Ku kakiiko akaanoonyereza ku by'ettaka yasabye pulezidenti Museveni okuteekawo enkola ennungamu ekoma ku balamuzi mu kkooti zonna okumala gafulumya ebiragiro bya kkooti ebisengula abantu naddala mu budde obw'ekiro .

Pulezidenti Museveni mu kwanukula kwe yategeezeza nti kabineeti egenda kwongera okwetegereza lipoota ya Bamugemereire ku by'ettaka oluvannyuma ejja kuddizibwa mu bantu nabo bongeremu ebirowoozo byabwe olwo eryoke eyisibwe etandike okuteekebwa mu nkola .

" Nnina essuubi ery'amaanyi nti lipoota eno bweneeteekebwa mu nkola egenda kuyamba okutereeza n'okumalawo emivuyo emigimaze ekiseera nga gyetobese mu by'ettaka okuviira ddala mu mirembe egy'edda, Abazungu webaaweera ab'emiruka n'abakungu mu Buganda ne mu Bunyoro ettaka "

Yasabye ababaka okumuyamba okulaba ng' ebiri mu lipooti eno byonna biteekebwa mu nkola ku lw'obulungi bwa Bannayuganda abamaze ekiseera nga bayisibwa bubi ku ttaka olw'amateeka agamu agaliwo agataakolebwa bulungi.

 

 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts