OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II asuuke ekirwadde kya ‘Alagy'e ekimutawaanya.
Kino kiddiridde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, okuvaayo wiiki ewedde n'ategeeza Obuganda nti Ssaabasajja Kabaka tali bulungi olw'ekirwadde kya ‘alagye' ekimusumbuwa nga kimuwa obuzibu mu kussa.
Omulabirizi Luwalira , bw' abadde ku Kkanisa ya St.Stephens Luzira ku mukolo gy'okutuuza Ssabadinkoni w'Obulabirizi bw'e Luzira, ategeezezza nti abantu bonna gyebali bateekwa okusabira Ssaabasajja asuuke obulwadde obuluma asobole okugenda mu maaso ng'alamula Obuganda.
Asabidde abasawo bonna abali ku mulimu gw'okujjanjaba Kabaka nti Mukama abateekeko ekisa Omutanda asobole okussuka mu kiseera ekitali kya wala era n'Abalangira n'Abambejja n'Obuganda bwonna okubeera abagumu mu kiseera kino eky'okugezesebwa Buganda ky'erimu.
Mu ngeri y'emu Omulabirizi, Luwalira atabukidde Abakristaayo abamu beyagambye nti basusse okukolokota n'okuyisa olugaayu mu baweereza b'e Kkanisa nga baboogerera amafuukule ekisannyalaza obuweereza mu Kkanisa.
Akuutidde Ssabadinkoni w'e Luzira atuuziddwa Ven.Canon Moses Banja, okubeera omunywevu mu buweereza bwe era aleme kuggwamu maanyi olw'abamu ku bantu abayinza okumulwanyisa olw'okwenoonyeza ebyabwe.
Ye Ven. Canon Moses Banja, oluvannyuma lw'okutuuzibwa ku Bwassabadinkoni bw'e Luzira, yeeyamye okutwala Obusabadinkoni mu maaso era n'ategeeza nti ensonga y'okulwanirira n'okukuuma ettaka ly'e Kkanisa waakugikwasa maanyi okusobola okukulaakulanya Obussabadinki obumukwassiddwa.
Bwo obubaka bwa Katikkiro wa Buganda bumusomeddwa omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, ow'ekitiibwa Patrick Luwaga Mugumbule, akubirizza abakulembeze b'eddiini okussa ennyo amaanyi ku nsonga y'okugatta abantu n'ategeeza nti y'engeri yokka Uganda gy'eyinza okutuuka ku nkulaakulana eyannamaddala.
Source