Munnansi wa Buwalabu Khalid Al Ameri ng' ono amanyidwa nnyo okukozesa emikutu gy'omutimbagano okulaga abantu by'akola mu makaage n'abaana be wamu ne mukyala we yatuuse mu ggwanga ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe .
Khalid yatuuse mu Uganda ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo eggulo ng' awerekeddwaako mukyala we n'abaana era nga bano baakumala ennaku ssatu mu Uganda nga balambula ebifo eby'enjawuulo .


Ono waakutuukako mu makuumiro g'ebisolo okuli Queen Elizabeth e Kasese ne Bwindi .
Ekitongole ekyebyobulambuzi mu ggwanga ekimanyidwa nga Uganda Tourism Board nga bakulembeddwaamu Claire Mugabi kitunzi agambye nti Khalid waakuleka ensimbi nnyingi nnyo mu ggwanga ebbanga lyanaamala ng' alambula ebifo eby'enjawulo mu ggwanga .
Source