Monday, April 19, 2021

Poliisi eyogezza eyakwatiddwa ku by'okumenya ewa Ssaabasumba

Poliisi eyogezza eyakwatiddwa ku by'okumenya ewa Ssaabasumba

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga.

Dominic Kakooza, omutuuze w'e Kyabakadde mu ggombolola y'e Kyampisi
mu disitulikiti y'e Mukono, yasoose n'abalaga n'okubagerezaamu engeri gye yabuuse ekikomera ekiro ekyakeesezza Olwokutaano n'addukira mu maka ga
muliraanwa.

Yakulembeddemu poliisi wakati mu byokwerinda ebyamaanyi n'abagala we yayise.
Bambega baagoberedde ebigere okukakasa oba bibye era ekimu ku kyo baamugambye
n'akyegezaamu nga kituufu kikye.

Yategeezezza nti yagudde kkava emirundi ebiri okukakasa nti tewali amulabye era
oluvannyuma n'ayolekera amaka ga mukozi munne ayitibwa Amooti Rwaboogo.

Okutuuka mu maka ga Rwaboogo, okuva mu maka ga Ssaabasumba, poliisi kyagitwalidde eddakiika 12 kyokka Kakooza eyabadde adduka obuddusi, yategeezezza nti kyamutwalidde eddakiika kkumi.

"Lwaki wabuuse ewa Enock, n'ewa ssentebe oba ku poliisi n'oddukira ewa Rwaboogo?" bwetyo Poliisi bwe yabuuzizza Kakooza.

Akulira bambega ba poliisi y'e Naggalama, Stephen Musinguzi yategeezezza Bukedde
nti abamu ku baabadde mu kibinja ekyalumbye amaka ga Ssaabasumba baatandise
okukozesa essimu ze babbye nga basindikira abeemikwano n'eηηanda zaabwe obubaka
nga babasaba ssente.

"Essimu okusinga bakozesa ya Faaza Joseph Wamala era basindika obubaka eri
abantu be ab'enjawulo nga babasaba ssente balyoke babaddize essimu zaabwe
n'ebintu ebikalu bye baababbyeeko," Musinguzi bwe yategeezezza.

BYONNA TUBIKWASIZZA KATONDA
Muto wa Ssaabasumba Lwanga, ayitibwa Justin Mayanja yagambye nti, "Byonna
tubikwasizza Katonda kuba gwe twesiga yekka kuba era ye yabayambye okusigala
nga balamu wadde nga baatutte ebintu ebikalu omwabadde ttivvi ennene eyabadde
mu ddiiro, amasimu mukaaga, n'ensimbi enkalu," Mayanja bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti abanyazi baalowoozezza nti abagenyi abaabakyalira ku Lwokuna
nga bakulembeddwa Omutaka Gabunga baali balina bye babalekedde ebyamaanyi sso
nga byali bintu bikalu okwali amatooke, enkoko, ssekkokko, n'ebintu ebirala.

Ssentebe w'ekyalo Patrick Jjemba, yalaze okutya olw'emize gy'obubbi ebikudde
ejjembe ku kyalo kyabwe.

Kirowoozebwa nti abalumbaganyi ekigendererwa kyabwe okusinga kyabadde
ku ssente z'amabugo nga balowooza nti bazitereka mu kimu ku bisenge bye baayazizza
kimu ku kimu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts