BYA STUART YIGA
Ebizimbe bya Madhvani okuli sitoowa z'ekitongole kya Joint Medical Stores zikutte omuliro mu kibangirizi ky'amakolero ku 5th Street industrial area okukkannana nga ebikumi n'ebikumi bya kondomu saako obutimba bw'ensiri biyidde.
Kigambibwa nti omuliro guno guvudde ku byuma bye babadde bookya mu kifo kino.
Wabula aduumira Poliisi mu Kampala n'emiraano saako akulira poliisi y'abazinyamooto Joseph Mugisa batuudde mu budde okutaasa ebintu n'okulaba nga tewali anyagulula bintu bitaasiddwa.
Sitoowa ezimu zibaddemu ttivi wabula ng'ezisinga zitaasiddwa abaduukirize











