Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu.
Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko- Kyebando mu Disitulikiti y'e Wakiso agobye omumyuka we Cate Kajjabwangu, owebyokwerinda, Ahmed Bembe n'owamawulire Hamisi Ssekamate n'abalagira obutadda mu offiisi ye kubanga ye yabalonda era alina obuyinza obubagoba.
Ono atulaze ku lukalala olwateekebwa munda mu offiisi ng' abamu yabasazaamu kubanga babadde bamuyisaamu amaaso, tebamuwulira nga bw'akuba enkiiko tebajja ssaako n'okugaana abantu okwetaba mu lukiiko lwe ate nga bagezaako n'okwagala okumuggyamu obwesige ng'ate ye yalondebwa bantu.