WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira mu Nakawa gye bigweeredde ng'a bawanguddwa tebamatidde bikuvuddemu.
Embiranye ebadde ku kifo kya ssentebe ekibadde kyesimbiddwaako Christopher Lobbo ne Gilberto Baguma.
Enkalu zibadde ku kuyingira mu kisaawe awabadde okulonda nga waliwo abakulembeze ba kiraabu bbiri okuli Kyambogo United ne Akapiisi Soccer academy abasoose okulemwa okukkaanya ku ani alina okulonda okutuusa Patrick Ntege okuva mu FUFA bw'abiyingidemu ne basalawo abalina okulonda.


Okulonda kugenze okukomekkerezebwa nga Lobbo awangudde Baguma n'obululu 28 ku 25. Wabula Baguma tamatidde n'agamba nti waliwo abakulembeze ba kirabu emu eya Akapiisi abagaaniddwa okulonda ne bakkiriza abakadde bagamba nti baatunda kiraabu era waakwekubira enduulu mu FUFA ku nsonga eno.
Peter Kayinda akulira emirimu mu kiraabu ya Akapiisi agambye nti babadde bazze kulonda naye yeewuunyizza okubagaana okulonda ne bakkiriza abantu abaabaguza kiraabu abakulembeddwa omusumba Peter Bakulu okulonda.
Abalala abalondeddwa ku bukiise bwa Nakawa kuliko; Angello Lonyesi, Ahmed Juma Midi ne Jemima Babirye Katende ate Richard Kavuma n'alondebwa ku bukiise bwa bacoochi.Lobbo asuubiza okukulaakulanya omupiira mu Nakawa.