
ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi bubiri. John Bosco Lubega ne Amatos Mwebeiha basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okugezaako okufera Paasita ssente akawumbi kamu n'obukadde 750.
Lubega ne Amatos baababdde mu maaso g'omulamuzi Patience Lorna Tukundane owa kkooti y'eddaala erisooka e Makindye n'abasomera emisango okuli okufera, okuwaayo ebiwandiiko ebikyamu , okwekobaana okuzza omusango ssaako okuwaayo amawulire ag'obulimba eri omukozi wa gavumenti.
Omuwaabi wa gavumenti, Harriet Adong ategeezezza kkooti okunoonyereza ku kyagenda mu maaso n'asaba omusango gwongezebweyo.
Abawawaabirwa baleese abantu baabwe okubeeyimirira nga bano kubaddeko Fredrick Bogere , Micheal Kasozi, Christopher Sserwadda ne Mark Walungama kyokka omuwaabi wa gavumenti n'asaba aweebwe obudde asobole okwekenneenya ebiwandiiko by'abantu abazze okubeeyimirira.
Omulamuzi Tukundane abawawaabirwa abasindise mu kkomera okutuusa nga May 7, 2021 lwe bannadda mu kkooti okuwulira ensala ya kkooti ku kusaba kwabwe okw'okweyimirirwa. Baatwaliddwa mu kkomera e Kitalya.
Kigambibwa nti abawawaabirwa nga June 5, 2019 e Muyenga mu disitulikiti y'e Kampala n'ekigendererwa eky'okufera Paasita Daniel Walugembe owa Internal Life Gospel Church e Wandegeya, baakola endagaano enjingirire nga bagamba nti Amatos abanja Walugembe 1,750,000,000/-.

Oludda oluwaabi era lulumiriza nti Lubega ne Amatos wakati wa June 2019 ne December 2019 ku poliisi e Kabalagala abawawaabirwa nga bakimanyi bulungi bawaayo ekiwandiiko kye bagamba nti kwe baaweera Walugembe ssente ne bagiwa omuwandiisi wa kkooti.
Walugembe alumiriza bano nti byonna baabikola nga baagala kumubba era ne beekobaana n'omukungu mu kwekebejja ebiwandiiko Erisa Ssebuwufu (tabaddewo mu kkooti) eyategeeza nti omukono oguli ku kiwandiiko gwa Walugembe kyokka ng'alimba.
Abawawabirwa nga bakolagana ne Ssebuwufu era kigambibwa nti beekobana okuzza omusango nga balimba mbega wa poliisi Moses Kalanyi bwebamutegeeza ng'ekiwandiiko kyebaleese nti Walugembe yakissaako omukono kyokka nga balimba.
Omusango omulala bavunaaniddwa okuwaayo obulimba mbega wa poliisi moses kalanyi eyali mu kunonyereza mu musango bwebamugamba nti ekiwandiiko kyebamuwadde kituufu era ky'amazima kyokka nga balimba.
Bino byonna byaliwo wakati wa June 2019 ne February 2020 mu bitundu bya Muyenga ne Kabalagala mu kampala